Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda ng’Obuulira
Omuntu bw’akkiriza tumubuulire amawulire amalungi, tukozesa bulungi Ekigambo kya Katonda nga tumusomera ebyawandiikibwa butereevu okuva mu Bayibuli. Ensonga eno yassibwako essira ku lukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka oguwedde. Omulabirizi w’ekitundu yawa emboozi eyalina omutwe ogugamba nti “Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda mu Buweereza Bwo.” Okyajjukira ensonga enkulu ezaali mu mboozi eyo?
Lwaki Ekigambo kya Katonda kya maanyi okusinga ebigambo byaffe?—2 Ti. 3:16, 17.
Bayibuli ekwata etya ku nneewulira zaffe ne ku ndowooza zaffe, era ekyusa etya ebiruubirirwa byaffe n’empisa zaffe?—Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 15, 2012, lup. 27, kat. 7.
Bwe tuba tusomera omuntu ekyawandiikibwa, tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda?—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 148, kat. 3–lup. 149, kat. 1 ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2013, lup. 6, kat. 8.
Lwaki kikulu okunnyonnyola ebyawandiikibwa bye tuba tusomedde abantu, era ekyo tuyinza kukikola tutya?—Bik. 17:2, 3; laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 154, kat. 4 okutuuka ku lup. 156, kat. 5.