Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Noovemba 1
“Olowooza bamalayika bafaayo ku ebyo bye tukola? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli erimu ebigambo bino ebibuguumiriza. [Soma Lukka 15:10.] Ekitundu kino kinnyonnyola ebyo Yesu bye yayogera ku ekyo ebitonde eby’omwoyo kye biyinza okutukolako.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 16.
Awake! Noovemba
Soma 2 Timoseewo 3:16. Oluvannyuma gamba nti: “Olowooza tusobola okwesiga buli kimu ekiri mu Baibuli era ekyo okkiriziganya nakyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kinnyonnyola obanga ebyafaayo n’abekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bakakasa ekyo Baibuli ky’eyogera ku Misiri ey’edda.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 15.
The Watchtower Ddesemba 1
“Abantu bangi bakkiriza nti waliyo ebitonde eby’omwoyo eby’amagezi ebirina kye bikola ku bulamu bw’abantu. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu, era soma Okubikkulirwa 12:7-9.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku bitonde eby’omwoyo, kye biyinza okutukolako, era obanga tusobola okwogera nabyo.”
Awake! Ddesemba
“Wali weebuuzizza ensonga lwaki Ssekukkulu ekuzibwa nga 25 Ddesemba ate nga Baibuli teyogera lunaku Yesu lwe yazaalibwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku lunyiriri luno, Yesu tayinza kuba nga yazaalibwa mu kiseera kya butiti. [Soma Lukka 2:8.] Magazini eno eraga ensibuko y’obumu ku bulombolombo obukolebwa ku Ssekukkulu.”