LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/11 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 2/11 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Febwali 1

“Olowooza ddala kisoboka okutegeera Katonda ky’ali? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wano waliwo ekitundu ekirungi ekyogera ku nsonga eno.” Soma era mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo 2 ekiri ku lupapula 16 n’ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo 3.

Awake! Febwali

“Olw’okuba Bayibuli kitabo kikadde nnyo abamu balowooza nti by’eyogera ku sayansi si bituufu. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi kibeewuunyisa okulaba nti Bayibuli eyogera ebigambo bino. [Soma Isaaya 40:22.] Ekitundu ekitandikira ku lupapula 22 kiddamu ekibuuzo kino: Sayansi ne Bayibuli bikwatagana?”

The Watchtower Maaki 1

“Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa nnyo olw’omulimu gwabwe ogw’okubuulira. Wali weebuuzizzaako lwaki tukola omulimu guno? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Bayibuli ky’egamba. [Soma Matayo 24:14.] Magazini eno eddamu ebibuuzo bino: Amawulire gano amalungi ge galuwa? Obwakabaka kye ki? Era enkomerero egenda okujja y’eruwa?”

Awake! Maaki

“Okuva bwe kiri nti abantu bangi balwala, tubuulirako bannaffe essuubi eriri mu kyawandiikibwa kino. [Soma Isaaya 33:24.] Kino bwe kiriba kituukiriziddwa, olowooza obulamu bulibeera butya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebintu ffenna bye tusobola okukola okusobola okuba abalamu obulungi okutuusa nga Katonda aleese enkyukakyuka eyo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share