Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Febwali
“Bangi bagamba nti Sitaani y’aleetera abantu okukola ebintu ebibi. Naye beebuuza: ‘Sitaani yava wa? Katonda ye yamutonda?’ Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze akatabo kano kye kagamba.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 1, era musomere wamu akatundu akasooka n’ekyawandiikibwa ekiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Febwali 1
“Olina ky’omanyi ku Musa, omusajja Abakristaayo, Abayudaaya, n’Abasiraamu gwe bassaamu ennyo ekitiibwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wadde nga Musa alina ensobi ze yakola, Bayibuli emwogerako bulungi. [Soma Ekyamateeka 34:10-12.] Akatabo kano kalaga ezimu ku ngeri ennungi Musa ze yalina n’engeri gye tusobola okumukoppamu.”
Awake! Febwali
“Ennaku zino abantu batera okugenda mu nsi endala nga baagala okuba mu bulamu obweyagaza. Olowooza bafuna kye baba baagala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Eky’okugenda mu nsi endala si kipya. Weetegereze ekyokulabirako kino ekiri mu kitabo ekisookera ddala mu Bayibuli. [Soma Olubereberye 46:5, 6.] Akatabo kano kaddamu ebibuuzo bino.” Mulage ebibuuzo ebiri ku nkomerero y’olupapula 6.