Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Febwali
“Olowooza leero Katonda alina ekibiina ekitegeke, oba akolagana na bantu kinnoomu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’eyogera ku bantu Katonda be yategeka edda ennyo.” Bikkula olupapula 26 mu Watchtower eya Febwali 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Muwe magazini zombi, era okole enteekateeka ey’okumuddira mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Febwali 1
“Mu myaka egiyise abantu babadde boogera nnyo ku Kalumagedoni? Olowooza waliwo ekintu kyonna abantu kye bayinza okukola okulemesa Kalumagedoni okubaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekigambo ‘Kalumagedoni’ kisangibwa wano mu Bayibuli. [Soma Okubikkulirwa 16:16. Oluvannyuma mulage ebyo ebiri kungulu ku magazini.] Magazini eno eraga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo.”
Awake! Febwali
“Leero abantu bangi banyumirwa nnyo okuwuliziganya n’abalala nga bakozesa Intaneeti. Olowooza okuwuliziganya mu ngeri eno kulimu omutawaana gwonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli erimu emisingi egiyinza okutuyamba okwewala emitawaana egiva mu kukozesa obubi Intaneeti. [Bikkula olupapula 6-9, mukubaganye ebirowoozo ku kimu ku bibuuzo ebyo n’ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa.] Magazini eno ejja kukusobozesa okuzuula n’okwewala ebizibu ebiva mu kuwuliziganya n’abalala ku Intaneeti.”