Okunyumirwa Ennyimba z’Obwakabaka
Abaweereza ba Katonda batwala ennyimba ng’ekirabo okuva eri Yakuwa. (Yak. 1:17) Ebibiina bingi binyumirwa okuwuliriza Ennyimba z’Obwakabaka ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. Okuwuliriza ennyimba z’Obwakabaka kituzzaamu amaanyi era kituleetera okwesunga enkuŋŋaana. Kituyamba okuteekateeka ebirowoozo byaffe. Ate era, okuwuliriza ennyimba empya kituyamba okuziyiga ne tuba nga tusobola okuziyimba obulungi. Ennyimba ng’ezo bwe ziteekebwako oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, wabaawo embeera ennungi era ezzaamu amaanyi nga tunyumyamu n’abalala. Abakadde bayinza okusalawo obanga ennyimba ezitaliimu bigambo (Sing to Jehovah—Piano Accompaniment) ze ziba zissibwako oba ezo ezirimu ebigambo (Sing to Jehovah—Vocal Renditions). Basaanidde okukakasa nti eddoboozi teritumbulwa nnyo ekiyinza okulemesa abalala okunyumya obulungi.