“Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu . . .”
Buli mwezi, mu Lukuŋŋaana lwaffe olw’Obuweereza tubeera n’ekitundu ekikwata ku kugaba magazini. Ekigendererwa ky’ekitundu kino si kwogera ku ebyo ebiri mu magazini wabula, kukubaganya birowoozo ku ngeri gye tuyinza okugabamu magazini. N’olwekyo, okusinziira ku bulagirizi obutuweebwa, ow’oluganda aba akubiriza ekitundu ekyo akyanjula mu bufunze okusobola okuleetera ababuulizi okwesunga okugaba magazini. Oluvannyuma, anokolayo ekitundu kimu kimu n’asaba ababuulizi bakubaganye ebirowoozo ku ngeri gye bayinza okukikozesaamu nga bazigaba. Mu kifo ky’okusaba ab’oluganda bawe ennyanjula gye bayinza okukozesa nga bagaba magazini, ababuuza bibuuzo ki na byawandiikibwa ki ebiyinza okusikiriza abantu ab’omu kitundu kye babuuliramu. Afundikira ng’alaga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi. Tukubirizibwa okusoma magazini nga tetunnagenda mu nkuŋŋaana n’okuba abeetegefu okukubaganya ebirowoozo. Ffenna bwe tutegeka obulungi, buli omu ajja kuyigira ku munne.—Nge. 27:17.