Ekitundu Kino Kiyinza Kusikiriza Baani?
1. Bwe tuba tusoma Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! kiki kye tusaanidde okulowoozaako, era lwaki?
1 Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zikubibwa n’ekigendererwa eky’okuyamba abantu aba buli ngeri. Eyo ye nsonga lwaki ebitundu ebiba mu magazini ezo bikwata ku nsonga ezitali zimu. N’olwekyo, bwe tuba tusoma ekitundu mu magazini, tusaanidde okulowooza ku bantu be kiyinza okusikiriza, n’okufuba okubatwalira magazini eyo.
2. Bitundu bya ngeri ki ebiba mu magazini zaffe ebiyinza okusikiriza abantu?
2 Omunaala gw’Omukuumi ogwakafuluma gulimu ekitundu ekikwata ku nsonga gye wayogerako ne mukozi munno gye buvuddeko? Gulimu ekitundu ekikwata ku maka ekiyinza okuganyula omu ku b’eŋŋanda zo? Waliwo mukwano gwo ateekateeka okugendako mu emu ku nsi ezaayogerwako mu Awake!? Emu ku magazini ezaakafuluma eyinza okusikiriza bannabizineesi oba abo abali mu kitongole kya gavumenti ekiri mu kitundu kyammwe? Magazini bw’ebaamu ekitundu ekikwata ku kusomoozebwa abayizi kwe boolekagana nakwo eyinza okusikiriza abayizi, oba bw’ebaamu ekitundu ekikwata ku bumenyi bw’amateeka eyinza okusikiriza abakwasisa amateeka.
3. Kyakulabirako ki ekiraga nti kyamuganyulo magazini zaffe okuzitwalira abo be tusuubira nti bajja kusikirizibwa okusoma ebitundu ebizirimu.
3 Ebirungi Ebivuddemu: Oluvannyuma lw’okufuna Awake! eya Okitobba 2011 eyalimu ekitundu ekyalina omutwe, “Engeri y’Okukuzaamu Abaana nga Ba Buvunaanyizibwa,” ow’oluganda omu ne mukyala we ab’omu South Africa baakuba amasimu ku masomero 25 agali mu kitundu kye babuuliramu nga baagala okugatwalira magazini eyo. Amasomero 22 ku go gakkiriza okutwala magazini era ne gazigabira abayizi. Ow’oluganda omulala ne mukyala we nga nabo ba mu nsi eyo baagaba magazini eyo ku masomero agali mu kitundu kyabwe. Abasomesa mu limu ku masomero ago baasalawo okukozesa magazini eyo okubaako bye bayigiriza abayizi buli wiiki. Ow’oluganda oyo ne mukyala we baategezaako omulabirizi w’ekitundu ebyo ebyavaamu era n’akubiriza ebibiina ebiri mu kitundu kye okubuulira ku masomero. Bangi baasaba ofiisi y’ettabi ebaweereze kopi endala eza magazini eyo ne kiba nti magazini eyo yalina okuddamu okukubibwa!
4. Lwaki magazini zaffe tusaanidde okufuba okuziwa abantu bangi nga bwe kisoboka?
4 Magazini zaffe ziyamba abantu okutegeera amakulu g’ebintu ebiriwo mu nsi era ziyamba abantu okuyiga Bayibuli n’okutegeera Obwakabaka bwa Katonda. Mu nsi yonna, ze magazini zokka ‘eziranga obulokozi.’ (Is. 52:7) N’olwekyo, twagala okuziwa abantu bangi nga bwe kisoboka. Ekinaatuyamba kwe kulowooza ku bantu abayinza okusikirizibwa okusoma ebitundu ebizirimu.