Yogera ku Kitundu Kimu, Naye Gaba Magazini Zombi
Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Awake! zibaamu ebitundu eby’enjawulo. Mu kifo ky’okwogera ku bitundu bingi nga tubuulira omuntu kiba kirungi ne twogera ku kitundu kimu kyokka. Bwe tuba tumanyi bulungi ebiri mu magazini zombi, era bwe twetegereza ebiri awaka, tusobola okulonda ekitundu ekijja okusikiriza oyo gwe tuba tusanze. Ng’ekyokulabirako, singa tulaba ebintu abaana bye bazannyisa mu luggya oba mu nnyumba, tuyinza okwogera ku kitundu ekikwata ku maka. Bwe tusanga omusajja, tuyinza okwogera ku nsonga ezikwata ku basajja, gamba ng’okufuna gavumenti ennungi. Wadde nga tuba twogedde ku kitundu kimu kyokka, oyo gwe tuba tubuulira bw’asiima obubaka bwaffe, tuyinza okumuwa magazini zombi.