Okubaako Abantu Be Tuwa Magazini Obutayosa Kituyamba Okufuna Abayizi ba Bayibuli
1. Lwaki tuzze tukubirizibwa okubaako abantu be tuwa magazini obutayosa?
1 Abantu bangi tebaagala kubayigiriza Bayibuli naye ng’ate banyumirwa nnyo okusoma magazini zaffe. N’olwekyo, tuzze tukubirizibwa okubaako abantu be tuwa magazini obutayosa. Abantu bwe beeyongera okusoma magazini zaffe, kibaviirako okwagala okusoma Ekigambo kya Katonda. (1 Peet. 2:2) N’ekivaamu, bayinza okusoma ekintu ne kibakwatako, ne bakkiriza tubayigirize Bayibuli.
2. Abo be tuwa magazini obutayosa tuyinza tutya okubayamba okwongera okusiima obubaka bwaffe?
2 ‘Fukirira’ Ensigo ez’Amazima: Mu kifo ky’okuwa obuwi omuntu magazini n’ogenda, gezaako okukubaganya naye ebirowoozo kibasobozese okufuuka ab’omukwano. Ekyo kijja kukusobozesa okutegeera ebimukwatako, by’ayagala, ne by’akkiririzaamu ekinaakuyamba okwogera naye mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 16:23) Weeteeketeeke bulungi buli lw’oba ogenda okumutwalira magazini. Bwe kiba kisoboka, yogera mu bufunze ku emu ku nsonga eziri mu magazini era osome n’ekimu ku byawandiikibwa, osobole okufukirira ensigo ey’amazima eyasigibwa mu mutima gwe. (1 Kol. 3:6) Buli lw’oba omukyalidde, wandiika ennaku z’omwezi, magazini z’omulekedde, ensonga gye mwogeddeko n’ebyawandiikibwa bye musomye.
3. Abo be tuwa magazini zaffe obutayosa tusaanidde kubaddira mirundi emeka?
3 Tusaanidde Kuddayo Mirundi Emeka? Osaanidde okuddira omuntu omulundi gumu buli mwezi ng’omutwalira magazini empya. Kyokka, oyinza okumuddira enfunda eziwera okusinziira ku mbeera yo ne ku ngeri omuntu oyo gy’asiimamu obubaka bwaffe. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lwa wiiki emu oba bbiri, oyinza okumuddira n’omugamba nti, “Waliwo ensonga gye nnandyagadde twogereko mu bufunze eri mu magazini gye nnakulekera.” Ekyo kijja kumuleetera okwagala okusoma ekitundu ekirimu ensonga eyo. Bw’aba ng’ekitundu ekyo yamaze okukisoma, oyinza okumubuuza kye yayizeemu era ne mukikubaganyaako ebirowoozo mu bufunze. Oba omuntu bw’aba ng’anyumirwa okusoma ebitabo byaffe, oyinza okumuddira n’omulaga tulakiti, brocuwa, oba ekitabo ekiba kigabibwa omwezi ogwo.
4. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okumanya obanga oyo gwe tutwalira magazini obutayosa ayagala okuyiga Bayibuli?
4 Tolinda muntu kukusaba omuyigirize Bayibuli. Mutegeeze nti tulina enteekateeka y’okuyigiriza abantu Bayibuli. Wadde nga mu kusooka yagaana, buli lw’oba omutwalidde magazini empya mulage ekitundu ekirina omutwe, “Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino,” ekifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi olabe obanga anakkiriza okukubaganya naawe ebirowoozo. Oboolyawo oyinza okutandika okumuyigiririza Bayibuli ku mulyango gwe. Kyokka, bwe kiba nga tekisobose kutandika kumuyigiriza Bayibuli, oyinza okweyongera okumutwalira magazini kimuyambe okweyongera okusiima obubaka bwaffe.