Yamba Abantu b’Otera Okutwalira Magazini Okuyiga Amazima
1. Tuyinza tutya okuyamba omuntu gwe tutera okutwalira magazini okwagala okuyiga ebisingawo?
1 Abantu bangi be tusanga nga tubuulira batwaniriza era ne bakkiriza n’ebitabo byaffe naye tebakkiriza nteekateeka ya kuyiga nabo Baibuli obutayosa. Engeri emu gye tuyinza okubayambamu okuyiga amazima, kwe kubatwalira magazini buli lwe ziba zizze. Bw’owa omuntu magazini, wandiika erinnya lye, endagiriro ye, ennaku z’omwezi lw’osoose okwogerako naye, magazini z’omuwadde, ekyawandiikibwa kye mukubaganyizzaako ebirowoozo n’ekintu kyonna ky’olabye ekisinze okumusikiriza. Buli lw’ofuna magazini empya, londamu ensonga ezinaasikiriza abo b’otera okuzitwalira era ozoogereko lw’oba ozzeeyo okubakyalira. (1 Kol. 9:19-23) Oluvannyuma lw’ekiseera, bayinza okubaako kye basoma mu magazini ne kibaleetera okwagala okuyiga ebisingawo.
2. Lwaki kikulu abantu okunoonya Yakuwa leero era kiki ekirala kye tuyinza okukola okubayamba okumanya ebisingawo?
2 Kyokka, tukimanyi nti abantu abasinga obungi tebajja kufuuka baweereza ba Yakuwa nga basoma busomi magazini. Okuva bwe kiri ekikulu ennyo abantu okunoonya Yakuwa leero, kiki ekirala kye tuyinza kukola okubayamba? (Zef. 2:2, 3; Kub. 14:6, 7) Tusobola okubayamba okumanya ebisingawo nga tubasomera ekyawandiikibwa kye tuba tutegese buli lwe tuba tubatwalidde magazini.
3. (a) Tuyinza tutya okutegeka ekyawandiikibwa kye tunaakubaganyaako ebirowoozo? (b) Bintu ki ebisinga okukwata ku bantu b’omu kitundu kyo?
3 Okukubaganya Ebirowoozo ku Kyawandiikibwa Kimu: Lowooza ku abo b’otera okutwalira magazini era buli omu omutegekereyo ekyawandiikibwa kimu ekimukwatako kye munaakubaganyaako ebirowoozo. (Baf. 2:4) Ng’ekyokulabirako, singa omuntu aba yaakafiirwa omwagalwa we, oyinza okumukyalira enfunda eziwerako ne mukubaganya ebirowoozo ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku mbeera y’abafu n’essuubi ery’okuzuukira. Ebyo ebiri mu katabo Reasoning wansi w’emitwe “Death” (Okufa) ne “Resurrection” (Okuzuukira) oyinza okubikozesa ng’oteekateeka ekyawandiikibwa kye munaakubaganyaako ebirowoozo. Muyinza n’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga endala gamba ng’engeri obulwadde, obukadde n’okufa gye bijja okuggyibwawo. Ekikulu kwe kwogera ku kintu ekisikiriza omuntu era n’omulaga kiki Baibuli ky’ekyogerako.
4. Lwaki kikulu okuyamba abalala okutegeera Ebyawandiikibwa, era tuyinza kukikola tutya?
4 Bayambe Okutegeera: Wadde nga bulijjo kiba kirungi obutalandagga, twandibadde tetukoma ku kusoma busomi kyawandiikibwa kye tuba tulonze. Setaani azibye abantu amaaso baleme kutegeera mawulire malungi. (2 Kol. 4:3, 4) N’abo abatera okusoma Baibuli beetaaga okuyambibwa okusobola okugitegeera. (Bik. 8:30, 31) N’olwekyo, waayo ekiseera okunnyonnyola ekyawandiikibwa nga bwe wandikoze ng’owa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. (Bik. 17:3) Kakasa nti omuntu alaba omugaso oguli mu kusoma Ekigambo kya Katonda.
5. Omuntu gw’otera okutwalira magazini oyinza otya okumufuula omuyizi wa Baibuli?
5 Omuntu bw’aba ng’anyumirwa by’asoma, oyinza okutandika okukubaganya naye ebirowoozo ku Byawandiikibwa bibiri oba bisatu buli lw’oba ozzeeyo okumukyalira. Laba engeri gy’oyinza okutandika okuyiga naye mu brocuwa Atwetaagisa oba akatabo Okumanya. Bw’okola bw’otyo, abantu b’otera okutwalira magazini bayinza okufuuka abayizi ba Baibuli.