Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi
1. Olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka 2014 lujja kuba na mutwe ki?
1 Obutafaananako bintu abantu abatatuukiridde bye bakoze, Bayibuli erina amaanyi agasobola okukyusa ebirowoozo byaffe n’enneeyisa yaffe ne bituukagana n’ebyo Yakuwa by’ayagala. Ekigambo kya Katonda kya maanyi kwenkana wa? Tuyinza tutya okuganyulwa mu maanyi agali mu Kigambo kya Katonda? Tuyinza tutya okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda okuyamba abalala? Tuli bakakafu nti bonna abanaabaawo ku lukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2014 bajja kuganyulwa nnyo ng’ensonga ezo zoogerwako. Lujja kuba n’omutwe ogugamba nti: “Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi,” ogwesigamiziddwa ku Abebbulaniya 4:12.
2. Bibuuzo ki ebinaddibwamu mu lukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu?
2 Ebibuuzo Ebinaddibwamu: Nga programu egenda mu maaso, ssaayo omwoyo ng’ebibuuzo bino wammanga biddibwamu.
• Lwaki tusaanidde okwesiga Ekigambo kya Yakuwa? (Zab. 29:4)
• Tuyinza tutya okuganyulwa mu maanyi agali mu Kigambo kya Katonda? (Zab. 34:8)
• Oyinza otya okukozesa Ekigambo kya Katonda mu buweereza bwo? (2 Tim. 3:16, 17)
• Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa obulimba bw’ensi ya Sitaani? (1 Yok. 5:19)
• Omuvubuka, oyinza otya okutuuka ku buwanguzi mu by’omwoyo? (Yer. 17:7)
• Tuyinza tutya okuba ab’amaanyi ne bwe tuba abanafu? (2 Kol. 12:10)
• Kiki ekinaatuyamba okweyongera okukola enkyukakyuka ne bwe kiba nti twamala ebbanga ddene nga tulina emize emibi n’endowooza embi? (Bef. 4:23)
3. Ng’oggyeko okuwuliriza ebinaaba mu programu, ngeri ki endala gye tunaaganyulwa mu lukuŋŋaana olwo?
3 Nga tujja kuganyulwa nnyo mu lukuŋŋaana luno! Ate era, okufaananako olukuŋŋaana lw’ekitundu n’olwa disitulikiti, olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu lujja kutuwa akakisa okubeerako awamu ne baganda baffe ne bannyinnaffe ab’omu bibiina ebirala. (Zab. 133:1-3; 2 Kol. 6:11-13) N’olwekyo, fissaawo akadde osobole okubeerako ne mikwano gyo, n’okukola emikwano emipya. Bwe kiba nti mulina omwogezi akyadde, gamba ng’omulabirizi wa disitulikiti oba ow’oluganda okuva ku Beseri, oyinza okufissaawo akadde okunyumyako naye awamu ne mukyala we. Awatali kubuusabuusa, twesunga olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu!