Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
1. Tunaatandika ddi okusoma brocuwa Abakola Yakuwa by’Ayagala, era tunaaganyulwa tutya?
1 Okutandika ne wiiki etandika nga Okitobba 28, tujja kusomanga brocuwa, Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? mu lukuŋŋaana lw’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. Brocuwa eno empya eyafulumizibwa ku Lukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Essatu olwalina omutwe ogugamba nti “Kuumanga Omutima Gwo!,” yategekebwa okuyamba abayizi ba Bayibuli okwegatta ku kibiina kya Yakuwa. Okusoma brocuwa eno tekijja kukoma ku kutuyamba kwongera kusiima nkizo gye tulina ey’okubeera mu kibiina kya Yakuwa, naye era kijja kutuyamba okwongera okumanya engeri y’okugikozesaamu obulungi mu buweereza.—Zab. 48:13.
2. Tunaasoma tutya brocuwa Abakola Yakuwa by’Ayagala mu lukuŋŋaana lw’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina?
2 Engeri Gye Tunaagisomamu: Anaabanga akubiriza asaanidde okukakasa nti buli ssomo aliwa obudde obumala. Ajja kwanjulanga essomo ng’asoma omutwe gwalyo. Oluvannyuma ajja kusaba omusomi asome akatundu akanjula essomo eryo, era akubiriza ajja kubuuza abawuliriza ekibuuzo kye yateeseteese ekikwata ku katundu ako. Akatundu ako nga kawedde, buli katundu akatandika n’ebigambo ebiri mu nnukuta enkwafu musaanidde okukasoma n’okukakubaganyako ebirowoozo ku bwako. Naye singa wabaawo akatundu akali wansi waako akatatandika na bigambo ebiri mu nnukuta enkwafu, mubusomere wamu. Oluvannyuma akubiriza ajja kusaba abawuliriza boogere ku ngeri ebiri mu katundu ako oba mu butundu obwo gye biddamu ekibuuzo ekiri mu mutwe gw’essomo eryo. Ate era brocuwa eno erimu ebifaananyi bingi bye tuyinza okwogerako. Okusinziira ku budde bwe muba mulina ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga enkulu bisaanidde okusomebwa. Nga temunnagenda ku ssomo eriddako, mujja kwejjukanya essomo lye munaaba mumaze ng’akubiriza abuuza ebibuuzo ebiri ku nkomerero y’essomo eryo. Essomo bwe liba n’akasanduuko akalina omutwe, “Manya Ebisingawo,” omusomi ajja kukasoma oluvannyuma akubiriza asabe abawuliriza boogere ku ngeri ebiri mu kasanduuko ako gye biyinza okuganyulamu abayizi ba Bayibuli. Obudde bwe bubaawo, mujja kwejjukanya bye muyize ng’akubiriza abuuza ebibuuzo ebiri mu mitwe gy’amasomo ge munaaba musomye. Tekyetaagisa kugoberera nkola y’emu nga tuyigiriza omuyizi wa Bayibuli.
3. Biki bye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu brocuwa eyo?
3 Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu tegeka bulungi. Fuba okubaako by’oddamu. Lowooza ku ngeri ebyo bye mukubaganyako ebirowoozo gye biyinza okuganyulamu omuyizi wa Bayibuli. Okusoma brocuwa eno empya kijja kutusobozesa okuyamba abalala okutwegattako mu kukola Katonda by’ayagala nabo bafune essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.—1 Yok. 2:17.