Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Ya Kutusobozesa Okuyamba Abayizi Okwegatta ku Kibiina kya Yakuwa
1. Wa ensonga ssatu lwaki brocuwa Abakola Yakuwa by’Ayagala yakubibwa.
1 Watandika okukozesa brocuwa empya eyitibwa Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? Waliwo ensonga ssatu lwaki yakubibwa: (1) okuyamba abayizi ba Bayibuli okutegeera obulungi Abajulirwa ba Yakuwa, (2) okubayamba okumanya bye tukola, ne (3) okubayamba okumanya engeri ekibiina kyaffe gye kitambulamu. Okwawukana ku brocuwa gye twakozesanga eyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa—Be Baani? Kiki Kye Bakkiriza?, amasomo agali mu brocuwa eno Abakola Yakuwa by’Ayagala si manene era buli ssomo lisobola okukubaganyizibwako ebirowoozo mu ddakiika ttaano oba kkumi buli luvannyuma lw’okusoma n’omuyizi.
2. Nnyonnyola engeri brocuwa eno gye yategekebwamu.
2 Engeri Gye Yategekebwamu: Brocuwa eno yagabanyizibwamu ebitundu bisatu, era buli kitundu kyogera ku nsonga ey’enjawulo ekwata ku Bajulirwa ba Yakuwa nga bwe kiragiddwa waggulu. Erimu amasomo 28 era omutwe gwa buli ssomo, guli mu ngeri ya kibuuzo. Emitwe emitono egiri mu nnukuta enkwafu giddamu ekibuuzo ekyo. Erimu ebifaananyi okuva mu nsi ezisukka mu 50 ekiraga nti omulimu gwaffe gukolebwa mu nsi yonna. Amasomo agawerako galimu akasanduuko akalina omutwe ogugamba nti,“Manya Ebisingawo,” akalimu ebintu by’oyinza okukubiriza omuyizi wo okukola.
3. Tuyinza tutya okukozesa brocuwa Abakola Yakuwa by’Ayagala?
3 Engeri y’Okugikozesaamu: Laga omuyizi ekibuuzo omutwe gw’essomo. Oluvannyuma musomere wamu essomo eryo nga bw’oggumiza emitwe emitono egiri mu nnukuta enkwafu. Bwe muba mufundikira, mwejjukanye nga mukozesa ebibuuzo ebiri mu nkomerero y’olupapula. Oyinza okusoma essomo lyonna omulundi gumu oba okusoma akatundu kamu kamu nga bwe mukakubaganyaako ebirowoozo. Kozesa amagezi ng’osalawo ekyawandiikibwa kye munaasoma. Teweerabira kukozesa bifaananyi n’ebiri mu kasanduuko, “Manya Ebisingawo.” Kiba kirungi okusoma amasomo nga bwe gaddiriŋŋana. Kyokka, oyinza okugenda ku ssomo lyonna okusinziira ku bwetaavu obubaawo. Ng’ekyokulabirako, singa waba wanaatera okubaawo olukuŋŋaana olunene, oyinza okugenda ku ssomo 11.
4. Brocuwa eno empya enaatusobozesa kukola ki?
4 Bwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli, tuba tumuyamba okumanya Kitaffe ow’omu ggulu. Kyokka era twetaaga okumuyigiriza ebikwata ku “nnyaffe” ow’eby’omwoyo, nga kye kibiina kya Yakuwa. (Nge. 6:20) Nga tuli basanyufu nnyo okuba ne brocuwa eno empya etusobozesa okukola ekyo!