Baanirize!
1. Ddi lwe tusinga okufuna akakisa ak’okuwa obujulirwa, era lwaki?
1 Omukolo gw’Ekijjukizo ogubaawo buli mwaka gwe gusinga okutuwa akakisa ak’okuwa obujulirwa. Omwaka guno tusuubira abantu abasukka mu bukadde kkumi okutwegattako ku mukolo gw’Ekijjukizo bayige engeri bbiri enkulu Yakuwa ne Yesu ze baatulagamu okwagala okuyitira mu kinunulo. (Yok. 3:16; 15:13) Bajja kuyiga ku mikisa gye bajja okufuna olw’ekirabo ekyo Yakuwa kye yatuwa. (Is. 65:21-23) Kyokka, omwogezi si ye yekka ajja okuwa obujulirwa ku mukolo guno. Ffenna abanaabaawo tujja kufuna akakisa ak’okuwa obujulirwa obw’amaanyi nga twaniriza abagenyi n’essanyu.—Bar. 15:7.
2. Abagenyi tuyinza kubaaniriza tutya?
2 Mu kifo ky’okutuula obutuuzi ng’olinda programu etandike, oyinza okweyanjulira abagenyi abatudde okumpi naawe. Abagenyi bayinza okubaamu okutya era nga tebamanyi mukolo bwe gugenda kutambula. Okubateerako akamwenyumwenyu n’okubalamusa mu ngeri ey’omukwano kijja kubayamba okuggwamu okutya. Okusobola okumanya obanga omuntu azze lwa kuba yafuna akapapula akamuyita ku mukolo ogwo, oyinza okumubuuza obanga ogwo gwe mulundi gwe ogusoose okujja mu nkuŋŋaana zaffe oba okumubuuza obanga alina gw’amanyi mu kibiina. Ate era oyinza okumusaba atuule naawe musobole okukozesa Bayibuli yo n’akatabo ko ak’ennyimba. Bwe kiba nti waliwo ekibiina ekikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka mu kiseera ekyo, oyinza okumulambuza ebweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Ng’omukolo guwedde, mubuuze obanga alina ebibuuzo bye yandyagadde okubuuza. Bwe kiba nti mulina okuvaawo amangu ekibiina ekirala kisobole okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka, oyinza okumugamba nti: “Nandyagadde okumanya ky’olowooza ku ngeri omukolo gye gutambuddemu. Tusobola okuddamu okukusisinkana?” Oluvannyuma kola enteekateeka ey’okwongera okumuyamba. Abakadde mu kibiina basaanidde okufuba okuzzaamu amaanyi ababuulizi abatakyabuulira abanaaba bazze ku mukolo ogwo.
3. Lwaki kikulu nnyo okufuba okwaniriza abagenyi ku mukolo gw’Ekijjukizo?
3 Ku olwo, abagenyi abasinga obungi lwe bajja okusooka okulaba essanyu, emirembe, n’obumu ebiri mu lusuku olw’eby’omwoyo abaweereza ba Yakuwa lwe tulimu. (Zab. 29:11; Is. 11:6-9; 65:13, 14) Abagenyi banaakwatibwako batya? Okusingira ddala, kijja kusinziira ku ngeri gye tunaabaanirizaamu.