Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Nakkumu
1. Ebyo Nakkumu bye yayogera ku Yakuwa bituyigiriza ki?
1 Nnabbi Nakkumu yagamba nti Yakuwa awoolera eggwanga ku balabe be, era nti teri mulabe yenna ayinza kumuwangula. Ekyo kyeyoleka bulungi Yakuwa bwe yazikiriza ekibuga Nineeve eky’edda ne kifuuka matongo. (Nak. 1:2, 6) Ka twekenneenye ebimu ku ebyo ebiri mu bunnabbi bwa Nakkumu tulabe engeri gye biyinza okutuyamba mu buweereza bwaffe.
2. Bubaka bwa ngeri ki bwe tusaanidde okubuulira abantu?
2 Budaabuda Abalala era Bawe Essuubi: Bw’oba osoma ekitabo kya Nakkumu, oyinza okulowooza nti ekyogerwako kyokka kwe kuzikirizibwa kw’ekibuga Nineeve ekya Bwasuli. (Nak. 1:1; 3:7) Naye obunnabbi obwo gaali mawulire malungi eri abantu ba Yakuwa. Erinnya Nakkumu litegeeza oyo “Abudaabuda,” era Nakkumu yagumya Bayudaaya banne nti abalabe baabwe baali banaatera okuzikirizibwa! Ate era yabagamba nti Yakuwa “kigo ku lunaku olw’okulabiramu ennaku.” (Nak. 1:7) Naffe tubuulira abantu amawulire amalungi era tubakubiriza okufuula Yakuwa ekigo kyabwe.—Nak. 1:15.
3. Tuyinza tutya okukoppa Nakkumu bwe kituuka ku kukozesa ebyokulabirako?
3 Kozesa Ebyokulabirako: Ng’aluŋŋamizibwa Yakuwa, Nakkumu yageraageranya okuzikirizibwa kwa Nineeve ku kuzikirizibwa kw’ekibuga Nowamoni ekya Misiri ekyali kizikiriziddwa Bwasuli. (Nak. 3:8-10) Bwe tuba tubuulira abantu ebikwata ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, tusaanidde okubannyonnyola obunnabbi bwa Bayibuli obulaga nti Yakuwa atuukiriza buli ky’aba ayogedde. Ng’ekyokulabirako, Abababulooni n’Abameedi bwe baalumba ekibuga Nineeve mu 632 E.E.T., enkuba yatonnya nnyo omugga Tiguli ne gubooga, amazzi ne gasuula ekitundu kya bbugwe w’ekibuga ekyo. Ekibuga Nineeve kyawambibwa mangu nga Yakuwa bwe yali ayogedde.—Nak. 1:8; 2:6.
4. Biki bye tusaanidde okukola okuyamba abantu okutegeera obubaka bwe tubuulira?
4 Kozesa Ebigambo Ebyangu Okutegeera: Ebyo Nakkumu bye yawandiika bitegeerekeka bulungi. (Nak. 1:14; 3:1) Naffe tusaanidde okukozesa ebigambo ebitegeerekeka obulungi. (1 Kol. 14:9) Ku mulundi gw’oba osoose okusisinkana omuntu, munnyonnyole bulungi ensonga lwaki omukyalidde. Bw’oba oyigiriza omuntu Bayibuli, muyambe okukkiririza mu Yakuwa ne mu Kigambo kye era n’okulaba engeri ebyo by’ayiga gye bimukwatako.—Bar. 10:14.
5. Obunnabbi bwa Nakkumu butukakasa ki?
5 Nakkumu yali mukakafu nti buli kimu Yakuwa ky’ayogera kituukirira era ekyo kyeyoleka bulungi mu kitabo kye yawandiika. Ng’enkomerero y’ensi ya Sitaani egenda esembera, tubudaabudibwa nnyo bwe tusoma ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Ennaku tejja kujja mulundi gwa kubiri.”—Nak. 1:9, NW.