Okunnyonnyola Obunnabbi Obukwata ku Mwaka 1914
Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okuba abeetegefu okuddamu’ abo abatubuuza ebikwata ku nzikiriza zaffe, ‘nga tukikola n’obukkakkamu era nga tubassaamu ekitiibwa.’ (1 Peet. 3:15) Naye oluusi kiyinza obutatwanguyira kunnyonnyola mazima ag’omunda agali mu Bayibuli, gamba ng’obunnabbi obukwata ku mwaka 1914 Obwakabaka lwe bwatandika okufuga. Ebitundu ebibiri ebirina omutwe ogugamba nti, “Okukubaganya Ebirowoozo—Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga?” ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba n’ogwa Noovemba 2014 bisobola okutuyamba okunnyonnyola obunnabbi obwo. Ng’osoma ebitundu ebyo, weetegereze engeri omubuulizi ayitibwa Cameron gye yayambamu omuyizi we, era oluvannyuma oddemu ebibuuzo bino:
Cameron . . .
yasiima atya omuyizi we n’asobola okweyongera okukubaganya naye ebirowoozo?—Bik. 17:22.
yayoleka atya obuwombeefu ng’annyonnyola omuyizi we?—Bik. 14:15.
Lwaki . . .
Cameron yawumbawumbangako ebyo bye baabanga boogeddeko nga tannagenda ku nsonga ndala?
buli luvannyuma lwa kiseera Cameron yamubuuzanga obanga yali ategedde ebyo bye baabanga boogeddeko?
Cameron teyamunnyonnyola obunnabbi bwonna omulundi gumu?—Yok. 16:12.
Tuli basanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa, ‘Omuyigiriza waffe Omukulu,’ atuyigiriza okunnyonnyola abantu ab’emitima emirungi, amazima ag’omunda agali mu Bayibuli.—Is. 30:20, NW.