Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Febwali 1
“Akapapula kano tukawa buli omu mu kitundu kino leero, era kalaga obukulu bw’okusoma Bayibuli. Kano ke kako. [Muwe tulakiti erina omutwe ogugamba nti Bayibuli Ogitwala Otya?] Abantu abamu beebuuza obanga Bayibuli erimu amagezi agasobola okubayamba okukola obulungi emirimu gyabwe. Weetegereze Bayibuli ky’eyogera ku kukola. [Soma Omubuulizi 3:13.] Akatabo kano kalimu amagezi agava mu Bayibuli agasobola okukuyamba okufuna essanyu ng’okola omulimu gwo.”
Awake! Febwali
“Tubakyaliddeko okubalaga akatabo ka Awake! ak’omwezi guno. Kaddamu ekibuuzo kino. [Mulage ekibuuzo ekiri kungulu.] Nnandyagadde okumanya endowooza yo ku kyawandiikibwa kino ekiragiddwa mu katabo kano. [Soma Engero 29:11.] Olowooza amagezi gano gakyakola leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano koogera ku magezi ga mirundi ena okuva mu Bayibuli n’engeri gye tuganyulwa nga tugakoleddeko.”