Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Apuli 1
“Leero tugabira buli muntu ali mu kitundu kino akapapula kano. [Muwe tulakiti erina omutwe Bayibuli Ogitwala Otya? era omubuuze ebibuuzo ebiri kungulu. Mulage eky’okuddamu mu 2 Timoseewo 3:16, era omukubirize okusoma tulakiti eyo.] Abantu abamu tebamanyi nti Bayibuli eddamu ebibuuzo nga bino mu ngeri ematiza. [Mulage ebibuuzo ebiri ku ntandikwa y’ekitundu ekisooka ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi.] Akatabo kano kalaga engeri gy’osobola okufuna eby’okuddamu mu Bayibuli yo.”
Awake! Apuli
“Tubakyaliddeko nga twogera ku kizibu ekiriwo mu maka mangi leero. Mu myaka egiyise, abaana bangi baagonderanga bazadde baabwe, naye ennaku zino mu maka agamu tekikyali bwe kityo. Olowooza leero abazadde bagunjula bulungi abaana baabwe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti kikulu okukangavvula abaana. [Soma Engero 29:17.] Akatabo kano kalaga amagezi amalungi agali mu Bayibuli agakwata ku kukangavvula abaana.”