LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/15 lup. 2
  • Okuyigira ku Babuulizi Abalina Obumanyirivu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyigira ku Babuulizi Abalina Obumanyirivu
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Similar Material
  • Osobola Okubuulirako Nabo?
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Engeri y’Okutendekamu Abapya Okubuulira
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutendeka Ababuulizi Abapya
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Weeyongere Okubuulira n’Obunyiikivu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 6/15 lup. 2

Okuyigira ku Babuulizi Abalina Obumanyirivu

Ababuulizi abalina obumanyirivu tubatwala nga ba muwendo nnyo mu kibiina. Abamu ku bo bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ate abalala bayinza okuba ng’obumanyirivu babufunye mu kiseera ekitali kya wala. Ababuulizi abo balabye engeri Yesu gy’awaamu ekibiina Ekikristaayo obulagirizi mu nnaku zino ez’oluvannyuma ng’agaziya omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira, bafunye “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” ne basobola okwaŋŋanga okusoomoozebwa okutali kumu. (2 Kol. 4:7) Waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku babuulizi abalina obumanyirivu. Bwe baweebwa akakisa, kibasanyusa nnyo okuyigiriza abalala ebyo bye bazze bayiga. (Zab. 71:18) N’olwekyo, tusaanidde okubawa akakisa tusobole okubaako bye tubayigirako. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Mu Buweereza. Okusobola okufuuka ababuulizi abalungi, ababuulizi abapya n’abo abatalina bumanyirivu beetaaga okutendekebwa. Basobola okwetegereza engeri ababuulizi abalina obumanyirivu gye babuuliramu n’engeri gye bayigirizaamu. (Laba ekitundu ekirina omutwe, “Weeyongere Okubuulira n’Obunyiikivu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 15, 2015, akatundu ak’okusatu wansi w’omutwe omutono, “Yamba Abo Abatalina Bumanyirivu.”) Oganyuddwa otya mu kubuulirako n’ababuulizi ng’abo?

Saba omubuulizi alina obumanyirivu abuulireko naawe. Omubuulizi oyo bw’aba aliko obulemu, oboolyawo emirundi egimu oyinza okugenda n’omu ku bayizi bo mu maka ge ne mumusomeseza wamu. Bwe mumala okuyigiriza omuyizi, saba omubuulizi oyo akubuulire we weetaaga okutereezaamu era akuwe ku magezi.

Fissaawo Akadde Obeereko Nabo: Funayo akadde obeereko n’ababuulizi abalina obumanyirivu osobole okubategeera obulungi. Saba omu ku bo abeegatteko mu kusinza kw’amaka era mumubuuze ebibuuzo musobole okumutegeera obulungi. Omubuulizi oyo bw’aba aliko obulemu, muyinza okukola enteekateeka ne mumwegattako mu kusinza kw’amaka mu maka ge? Mumubuuze engeri gye yayigamu amazima. Ebirungi ebivudde mu buweereza bwe? Nkulaakulana ki ebaddewo mu kibiina gy’alabye? Biki ebimuleetera essanyu mu kuweereza Yakuwa?

Tobasuubira kukola ekisinga ku busobozi bwabwe. Okufaananako ffe, ababuulizi abalina obumanyirivu nabo balina ebirabo bya njawulo mu buweereza. (Bar. 12:6-8) Abamu ku bo bakaddiye era tebasobola kubeera naffe kumala kiseera kiwanvu. Wadde kiri kityo, waliwo bingi bye tusobola okubayigirako kubanga balina obumanyirivu era baweereza Yakuwa n’obwesigwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share