Osobola Okubuulirako Nabo?
Mu bibiina bingi mulimu ababuulizi abakola ekitono ennyo mu buweereza olw’okuba balina obulwadde obw’olukonvuba oba olw’okuba bakaddiye. (2 Kol. 4:16) Osobola okusaba omubuulizi ali mu mbeera ng’eyo okukuwerekerako ku muyizi wo owa Bayibuli. Oba oyinza okukola enteekateeka n’obuulirako naye nnyumba ku nnyumba oba ne mugenda mu kuddiŋŋana okumala ekiseera kitono. Bw’aba tasobola kuva mu nnyumba, oyinza n’okutwala omuyizi wo mu maka ge ne musomera eyo. Ababuulizi bangi abakaddiye balina obumanyirivu bungi. N’olwekyo bw’onoobuulirako nabo, tojja kukoma bukomi ku kubazzaamu maanyi, naye era naawe ojja kuganyulwa. (Bar. 1:12) Okugatta ku ekyo, bw’oyoleka okwagala mu ngeri eyo Yakuwa ajja kukuwa emikisa.—Nge. 19:17; 1 Yok. 3:17, 18.