Okusobola Okuyigiriza Obulungi Kitwetaagisa Okutegeka
Abantu ab’enjawulo baabuuza Yesu ekibuuzo ekikwata ku bulamu obutaggwaawo emirundi ng’ebiri. Naye ku buli mulundi, yaddangamu okusinziira ku oyo eyabanga amubuuzizza. (Luk. 10:25-28; 18:18-20) N’olwekyo, wadde nga tuyinza okuba nga tumanyi bulungi ebyo ebiri mu katabo ke tukozesa okuyigiriza abantu, tusaanidde okwetegekera buli muyizi gwe tugenda okuyigiriza. Biki ebiyinza okumuzibuwalira okutegeera oba okukkiriza? Byawandiikibwa ki bye tunaasoma? Tunaasoma butundu bumeka? Kiyinza okutwetaagisa okutegekayo ekyokulabirako, okumunnyonnyola, oba okumubuuza ebibuuzo ebinaamuyamba okutegeera ensonga gye tumuyigiriza. Ate era, olw’okuba Yakuwa y’akuza ensigo ey’amazima esigiddwa mu mutima gw’omuntu, tusaanidde okumusaba atuyambe nga twetegekera omuyizi, era ayambe n’omuyizi okukulaakulana.—1 Kol. 3:6; Yak. 1:5.