OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okubaako Bye Twerekereza Kitusobozesa Okutendereza Katonda
Leero, kyangu nnyo okukalubya obulamu bwaffe nga twetuumako ebintu. Ebintu bwe biba ebingi, kyetaagisa ebiseera bingi n’amaanyi mangi okubisasulira, okubikozesa, okubiddaabiriza, n’okubikuuma. Olw’okuba Yesu yeerekereza bingi, kyamusobozesa okwemalira ku buweereza bwe.—Mat 8:20.
Oyinza otya okubaako bye weerekereza osobole okugaziya ku buweereza bwo? Waliwo enkyukakyuka ze musobola okukola, ne kisobozesa omu ku b’omu maka gammwe okuweereza nga payoniya? Bwe kiba nti oli mu buweereza obw’ekiseera kyonna, otwaliriziddwa omwoyo gw’okwagala ebintu? Bwe tubaako bye twerekereza ne tuweereza Yakuwa mu bujjuvu, kitusobozesa okufuna essanyu n’okuba abamativu.—1Ti 6:7-9.
Bye nnyinza okwerekereza.