EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ENGERO 17-21
Noonya Emirembe
Abantu ba Yakuwa bakolagana bulungi. Wadde nga bafuna obutategeeragana, bakolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda ne basobola okuzzaawo emirembe.
Abakristaayo abeesigwa bwe bafuna obutategeeragana . . .
bafuba okusigala nga bakkakkamu
bafuba okumanya byonna ebizingirwamu nga tebannabaako kye boogera
lbasonyiwa oyo aba abanyiizizza