Ow’oluganda ng’agaba tulakiti Abafu mu Tuvalu
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Olowooza lwaki kikulu okweteekerateekera obutyabaga?
Ekyawandiikibwa: Nge 27:12
Eky’okugaba: Akatabo kano kalaga ebintu bye tusaanidde okukola okweteekerateekera akatyabaga, era ne bye tusaanidde okukola ng’akatyabaga kaguddewo.
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Tuyinza tutya okulaga nti twagala Katonda?
Ekyawandiikibwa: 1Yo 5:3
Amazima: Bwe tugondera amateeka ga Katonda tuba tulaga nti tumwagala.
DDALA ABAFU BASOBOLA OKUDDAMU OKUBA ABALAMU? (T-35)
Ekibuuzo: Abantu bangi okwetooloola ensi bakola emikolo nga bajjukira abantu baabwe abaafa. Olowooza tuliddamu okulaba abantu baffe abaafa?
Ekyawandiikibwa: Bik 24:15
Eky’okugaba: Akapapula kano kannyonnyola ebikwata ku ssuubi ery’okuzuukira. [Bwe kiba kisoboka, mulage vidiyo Tuliddamu Okulaba Abaafa?]
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.