Babuulira mu katale mu Sierra Leone
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Olowooza lwaki embeera y’ensi yeeyongera kwonooneka?
Ekyawandiikibwa: Yer 10:23
Eky’okugaba: Akatabo kano kannyonnyola ensonga lwaki abantu bangi balina essuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi.
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Katonda alina erinnya?
Ekyawandiikibwa: Zb 83:18
Eky’okugaba: Akatabo kano kannyonnyola amakulu g’erinnya lya Katonda n’ensonga lwaki tusaanidde okukozesa erinnya eryo. [Mulage ekitundu ekirina omutwe, “Bayibuli ky’Egamba—Erinnya lya Katonda.”]
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Olowooza okufa kuliggwaawo?
Ekyawandiikibwa: 1Ko 15:26
Amazima: Yakuwa ajja kuggirawo ddala okufa.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.