Mwannyinaffe abuulira omukyala n’omwana we mu West Bengal mu Buyindi
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Ffenna oluusi twetaaga okubudaabudibwa. Naye olowooza ani ayinza okutubudaabuda?
Ekyawandiikibwa: 2Ko 1:3, 4
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalaga engeri Katonda gy’atubudaabudamu.
OMUNAALA GW’OMUKUUMI (olupapula olusembayo)
Ekibuuzo: Abamu balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda ye mbeera eba mu mutima gw’omuntu; abalala balowooza nti abantu bwe banaaleeta emirembe mu nsi, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuba buzze. Ggwe olowooza otya?
Ekyawandiikibwa: Dan 2:44
By’oyinza okwogera: Okusinziira ku Bayibuli, Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala. Ekitundu kino kyogera ku bintu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda ebiri mu Bayibuli.
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Olowooza Katonda atufaako?
Ekyawandiikibwa: 1Pe 5:7
Amazima: Katonda atukubiriza okumusaba kubanga atufaako.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.