EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 14-15
Yaliisa Bangi ng’Ayitira mu Batono
Ng’embaga ey’Okuyitako ey’omwaka 32 E.E. enaatera okubaawo, Yesu yakola ekyamagero, era ng’ekyo kye kyamagero kyokka abawandiisi b’Enjiri bonna abana kye baawandiikako.
Yesu bwe yakola ekyamagero ekyo, yatandikawo enkola gy’akyagoberera n’okutuusa leero.
Yesu yalagira abatume be okuliisa enkumi n’ekumi z’abantu wadde nga baalina emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri
Yesu yatoola emigaati n’eby’ennyanja n’asaba, oluvannyuma n’abiwa abatume, abatume ne babigabira abantu
Bonna baalya ne bakkuta era ne bifikkawo. Yesu yaliisa abantu nkumi na nkumi ng’ayitira mu batume be bokka
Yesu yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero, yanditaddewo omukutu mwe yandiyitidde okuwa abantu emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu.—Mat 24:45
Mu 1919, Yesu yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” nga bano be b’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta, okulabirira “ab’omu nju,” nga bano be baliisibwa emmere ey’eby’omwoyo
Ng’akozesa ab’oluganda bano abaafukibwako amafuta, Yesu akyagoberera enkola gye yatandikawo mu kyasa ekyasooka
Nnyinza ntya okulaga nti mmanyi omukutu Yesu gw’akozesa okuwa abantu emmere ey’eby’omwoyo, era nti ngussaamu ekitiibwa?