Yaliisa Bangi ng’Ayitira mu Batono
‘Oluvannyuma lw’okumenyaamenyamu emigaati, Yesu yagiwa abayigirizwa be ne bagigabira abantu.’—MAT. 14:19.
1-3. Yesu yaliisa atya ekibiina ky’abantu abaali okumpi ne Besusayida? (Laba ekifaananyi waggulu.)
LOWOOZA ku ekyo ekyaliwo. (Soma Matayo 14:14-21.) Embaga y’Okuyitako ey’omwaka gwa 32 E.E. yali enaatera okutuuka. Abasajja nga 5,000, nga tobaliddeko bakazi na baana, baali wamu ne Yesu awamu n’abayigirizwa be mu kitundu ekyesudde ekiri okumpi ne Besusayida, ekyalo ekiri ebukiikakkono bw’Ennyanja ey’e Ggaliraaya.
2 Bwe yalaba ekibiina ky’abantu abo, Yesu yabasaasira, n’awonya abalwadde baabwe, era n’abayigiriza ebintu bingi ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Obudde bwe bwawuungeera, abayigirizwa baagamba Yesu asiibule abantu bagende mu bubuga obuliraanyeewo beegulire emmere. Naye Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwe mubawe eky’okulya.” Ekyo kye yabagamba kiteekwa okuba nga kyabeewuunyisa nnyo, kubanga baalinawo emigaati etaano gyokka n’eby’ennyanja bibiri byokka.
3 Yesu yakwatirwa abantu ekisa n’akola ekyamagero, era nga kino kye kyamagero kyokka ekisangibwa mu bitabo by’Enjiri byonna ebina. (Mak. 6:35-44; Luk. 9:10-17; Yok. 6:1-13) Yesu yagamba abayigirizwa be okutuuza abantu ku muddo mu bibinja bya bantu kikumi kikumi, n’ebirala bya bantu ataano ataano. Oluvannyuma lw’okusaba, yamenyaamenyamu emigaati n’eby’ennyanja. Mu kifo ky’okuwa abantu emmere eyo obutereevu, Yesu ‘yagiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagigabira abantu.’ Mu ngeri ey’ekyamagero, emmere eyo yamala abantu bonna! Weetegereze: Yesu yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu ng’ayitira mu bantu batono, kwe kugamba, ng’ayitira mu bayigirizwa be.a
4. (a) Okusingira ddala, mmere ki Yesu gya yali ayagala okuwa abagoberezi be, era lwaki? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino ne mu kitundu ekiddako?
4 Okusingira ddala, Yesu yali ayagala nnyo okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo. Yali akimanyi nti okulya emmere ey’eby’omwoyo, nga gano ge mazima agali mu Kigambo kya Katonda, kyandibayambye okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 6:26, 27; 17:3) Nga Yesu bwe yakwatirwa abantu ekisa n’abaliisa emigaati n’eby’ennyanja, n’abagoberezi be yabakwatirwa ekisa n’amala ebiseera bingi ng’abayigiriza amazima. (Mak. 6:34) Kyokka yali akimanyi nti ekiseera kye yandimaze ku nsi kyali kitono era nti yali agenda kuddayo mu ggulu. (Mat. 16:21; Yok. 14:12) Kati olwo Yesu yandisobodde atya okweyongera okuliisa abagoberezi be mu by’omwoyo ng’ate ali mu ggulu? Yandigoberedde enkola y’emu ey’okuliisa abangi ng’ayitira mu batono. Naye, abatono abo be yandiyitiddemu bandibadde baani? Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Yesu gye yakozesa abatono okuliisa abagoberezi be abangi abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Mu kitundu ekiddako, tujja kuddamu ekibuuzo kino ekikulu ennyo: Abatono Kristo baakozesa okutuliisa leero be baani?
Yaliisa bangi ng’ayitira mu batono (Laba akatundu 4)
YESU ALONDA ABATONO
5, 6. (a) Kiki Yesu kye yakola okukakasa nti abagoberezi be basigala nga baliisibwa bulungi mu by’omwoyo oluvannyuma lw’okufa kwe? (b) Yesu yateekateeka atya abatume be okusobola okwetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ng’amaze okufa?
5 Omutwe gwa maka ow’obuvunaanyizibwa afuba okukola enteekateeka okulaba nti ab’omu maka ge basigala balabirirwa bulungi singa aba afudde. Mu ngeri y’emu, Yesu, eyali agenda okufuuka Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, yakola enteekateeka okulaba nti abagoberezi be basigala balabirirwa bulungi mu by’omwoyo ng’amaze okufa. (Bef. 1:22) Ng’ekyokulabirako, ng’ebula emyaka ng’ebiri alyoke attibwa, Yesu yakola ekintu ekikulu ennyo. Yatandika okulonda abatono oluvannyuma be yandiyitiddemu okuliisa abangi. Ka tulabe ekyo ekyaliwo.
6 Oluvannyuma lw’okumala ekiro kyonna ng’asaba, Yesu yayita abayigirizwa be era mu bo n’alondamu abatume 12. (Luk. 6:12-16) Mu myaka ebiri egyaddirira, Yesu yamala ebiseera bingi ng’ayigiriza abatume be abo 12, okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa. Yali akimanyi nti baalina ebintu bingi bye baali beetaaga okuyiga; mu butuufu, beeyongera okuyitibwa “abayigirizwa.” (Mat. 11:1; 20:17) Yabawabulanga era n’abatendeka okukola omulimu gw’okubuulira. (Mat. 10:1-42; 20:20-23; Luk. 8:1; 9:52-55) Tewali kubuusabuusa nti yali abateekateeka basobole okwetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ng’amaze okufa n’okuddayo mu ggulu.
7. Okusinziira ku bigambo Yesu bye yagamba Peetero, okusingira ddala kiki abatume kye bandibadde bakola?
7 Abatume bandibadde na buvunaanyizibwa ki? Olunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. bwe lwali lunaatera okutuuka, kyeyoleka lwatu nti abatume be bandibadde batwala obukulembeze mu kibiina. (Bik. 1:20) Naye okusingira ddala kiki kye bandibadde bakola? Ebyo Yesu bye yagamba omutume Peetero bisobola okutuyamba okufuna eky’okuddamu. (Soma Yokaana 21:1, 2, 15-17.) Bwe yali ayogera ne Peetero, nga n’abamu ku batume abalala weebali, yamugamba nti: “Liisanga endiga zange.” Mu bigambo ebyo, Yesu yakiraga nti abatume bandibadde bamu ku abo abatono be yandiyitiddemu okuliisa abangi emmere ey’eby’omwoyo. Era biraga nti Yesu ayagala nnyo “endiga” ze.b
OKULIISA ABANGI OKUVA KU PENTEKOOTI N’OKWEYONGERAYO
8. Abayigirizwa abaafukibwako amafuta ku Pentekooti baakiraga batya nti baali bamanyi abo Kristo be yali akozesa okugaba emmere ey’eby’omwoyo?
8 Okuva ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., Kristo eyali azuukiziddwa yatandika okukozesa abatume be okuliisa abayigirizwa be abalala abaafukibwako amafuta. (Soma Ebikolwa 2:41, 42.) Abayudaaya n’abo abali bayingidde eddiini y’ekiyudaaya abaafukibwako amafuta ku olwo, baali bamanyi abo Kristo be yali akozesa okuliisa abagoberezi be mu by’omwoyo. Bwe kityo, “beeyongeranga okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga.” Okusinziira ku mwekenneenya omu, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “beeyongeranga okussaayo omwoyo” kisobola okutegeeza “okunywerera ku kintu ng’oli mukakafu nti kituufu.” Abayigirizwa abo abapya baali baagala nnyo emmere ey’eby’omwoyo era baali bamanyi wa aw’okugiggya. Baali bakimanyi nti abatume ba Yesu be bokka abaali basobola okubannyonnyola ebyo Yesu bye yayigiriza, bye yakola, awamu n’amakulu g’ebyawandiikibwa ebimwogerako.c—Bik. 2:22-36.
9. Abatume baakiraga batya nti omulimu gw’okuliisa endiga za Yesu mu by’omwoyo gwe baali bakulembeza mu bulamu bwabwe?
9 Abatume bulijjo baakijjukiranga nti obuvunaanyizibwa bwabwe obusinga obukulu kwe kuliisa endiga za Yesu mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, weetegereze engeri gye baakwatamu ensonga eyali ezzeewo mu kibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandika. Ensonga eyo yali ekwata ku kugaba mmere. Bannamwandu aboogera Oluyonaani baali tebaweebwa mmere eyagabibwanga buli lunaku, kyokka nga bo bannamwandu aboogera Olwebbulaniya baweebwa. Abatume baakwata batya ensonga eyo? Abatume “ekkumi n’ababiri” baalonda ab’oluganda abalina ebisaanyizo musanvu okulabirira “omulimu” ogw’okugaba emmere. Abatume, ng’abasinga obungi ku bo beenyigira mu kugabula emmere Yesu gye yaliisa ebibiina by’abantu mu ngeri ey’ekyamagero, baakiraba nti ekintu ekyali kisinga obukulu kye baalina okukola kwe kugabira abagoberezi ba Kristo emmere ey’eby’omwoyo. Bwe kityo, baasalawo okwemalira ku ‘kuyigiriza ekigambo kya Katonda.’—Bik. 6:1-6.
10. Kristo yakozesa atya abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi?
10 Omwaka gwa 49 E.E. we gwatuukira, waaliwo abakadde abalala abaalina ebisaanyizo abaali beegasse ku batume. (Soma Ebikolwa 15:1, 2; 16:4.) “Abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi” be baali bakola akakiiko akafuzi. Ng’Omutwe gw’ekibiina, Kristo yakozesa abasajja abo abatono abaalina ebisaanyizo okugonjoola ensonga ezikwata ku njigiriza n’okulabirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Bik. 15:6-29; 21:17-19; Bak. 1:18.
11, 12. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa yawa omukisa enteekateeka Omwana we gye yali akozesa okuliisa ebibiina mu kyasa ekyasooka? (b) Abantu baategeera batya abo Kristo be yali akozesa okuliisa ebibiina?
11 Ddala Yakuwa yawa omukisa enteekateeka Omwana we gye yali akozesa okuliisa ebibiina mu kyasa ekyasooka? Yee, yagiwa omukisa. Ekyo tukikakasiza ku ki? Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kigamba nti: “[Omutume Pawulo ne banne be yatambulanga nabo] ba[a]yita mu bibuga ne babuulira abaayo eby’okugoberera, ebyali bisaliddwawo abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi. Awo ebibiina ne byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongera buli lunaku.” (Bik. 16:4, 5) Weetegereze nti ebibiina ebyo byakulaakulana olw’okuba byakolera ku bulagirizi bw’akakiiko akafuzi akaali mu Yerusaalemi. Ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa yawa omukisa enteekateeka Omwana we gye yali akozesa okuliisa ebibiina. Ka bulijjo tukijjukirenga nti, tetusobola kukulaakulana mu by’omwoyo awatali mikisa gya Yakuwa.—Nge. 10:22; 1 Kol. 3:6, 7.
12 Kati tumaze okukiraba nti Yesu alina enkola gye yagobereranga ng’aliisa abagoberezi be: Yaliisanga bangi ng’ayitira mu batono. Mu kyasa ekyasooka kyali kyangu okutegeera abo Kristo be yali akozesa okuliisa abagoberezi be mu by’omwoyo. Lwaki? Kubanga waaliwo ebintu ebyali biraga nti abatume, abo abaasooka okuba ku kakiiko akafuzi, baalina obuwagizi bwa Katonda. Ebikolwa by’Abatume 5:12 wagamba nti: “Abatume ne beeyongeranga okukola obubonero bungi n’ebyamagero mu bantu.”d N’olwekyo, abo abaali bafuuse Abakristaayo baali tebasobola kwebuuza kibuuzo kino: ‘Ddala baani Kristo b’ayitiramu okuliisa endiga ze?’ Kyokka ekyasa ekyasooka bwe kyali kinaatera okuggwako ebintu byakyuka.
Mu kyasa ekyasooka, kyali kyangu okutegeera abo Kristo be yali akozesa okuliisa ekibiina (Laba akatundu 12)
EKISEERA OMUDDO WE GWABEERERA OMUNGI ATE NG’EŊŊAANO NTONO
13, 14. (a) Kiki Yesu kye yayogerako ekyandituuse ku kibiina Ekikristaayo, era ebigambo bye byatandika ddi okutuukirira? (b) Ekibiina Ekikristaayo kyandirumbiddwa kitya? (Laba obugambo obwa wansi ku lupapula 19.)
13 Yesu yagamba nti ekiseera kyandituuse ekibiina Ekikristaayo ne kirumbibwa. Kijjukire nti mu lugero lwe olukwata ku ŋŋaano n’omuddo, Yesu yagamba nti omuddo (Abakristaayo ab’obulimba) gwandisigiddwa mu ŋŋaano (Abakristaayo abaafukibwako amafuta). Yagamba nti eŋŋaano n’omuddo byandikulidde wamu okutuusa ku makungula, nga gano ge “mafundikira g’enteekateeka y’ensi.” (Mat. 13:24-30, 36-43) Oluvannyuma lw’emyaka mitono, ebigambo bya Yesu ebyo byatandika okutuukirira.e
14 Mu kyasa ekyasooka bakyewaggula baagezaako okwonoona ekibiina Ekikristaayo okuyitira mu njigiriza zaabwe enkyamu, naye abatume ba Yesu abeesigwa abaali bakola “ng’ekiziyiza” ne babalemesa. (2 Bas. 2:3, 6, 7) Kyokka oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, obwakyewaggula bwabuna mu bibiina byonna era eŋŋaano n’omuddo byakulira wamu okumala ebyasa bingi. Mu kiseera ekyo omuddo gwakula ne guba mungi nnyo okusinga eŋŋaano. Tewaaliwo kibiina ky’abantu kitegekeddwa bulungi Yesu be yali akozesa okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo. Naye embeera yali ya kukyuka. Kati ekyebuuzibwa kiri nti yandikyuse ddi?
BAANI ABANDIGABYE EMMERE EY’EBY’OMWOYO MU KISEERA KY’AMAKUNGULA?
15, 16. Birungi ki ebyava mu kuba nti Abayizi ba Bayibuli baafuba okwekenneenya Ebyawandiikibwa, era kibuuzo ki ekijjawo?
15 Ekiseera eky’eŋŋaano okukulira awamu n’omuddo bwe kyali kinaatera okuggwako, waliwo abantu abaali baagala ennyo okumanya amazima agali mu Bayibuli. Mu myaka gya 1870, waliwo akabinja k’abantu, abaali beeyita Abayizi ba Bayibuli, abaatandika okusomera awamu Bayibuli nga beeyawudde ku muddo, Abakristaayo ab’obulimba. Abantu abo abaali abawombeefu beekenneenyanga Ebyawandiikibwa era ne basaba Yakuwa abayambe okubitegeera obulungi.—Mat. 11:25.
16 Okuba nti Abayizi ba Bayibuli baafuba okwekenneenya Ebyawandiikibwa kyavaamu ebirungi bingi. Abasajja n’abakazi abo abaali abeesigwa baayanika enjigiriza ez’obulimba era ne babunyisa amazima okuyitira mu bitabo ebinnyonnyola Bayibuli bye baakubanga. Baayamba abantu bangi abaali balumwa enjala n’ennyonta ey’eby’omwoyo okutegeera amazima. Kati ekibuuzo ekijjawo kiri nti: Abayizi ba Bayibuli abaaliwo ng’omwaka 1914 tegunnatuuka be bantu Kristo be yayogerako nti be yandikozesezza okuliisa endiga ze? Nedda. Mu kiseera ekyo eŋŋaano yali ekyakulira wamu n’omuddo, era abo Kristo be yandikozesezza okugaba emmere ey’eby’omwoyo yali tannabalonda. Ekiseera kyali tekinnatuuka Abakristaayo ab’obulimba okwawulibwa ku Bakristaayo ab’amazima.
17. Bintu ki ebikulu ebyatandika okubaawo mu 1914?
17 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, ekiseera ky’amakungula kyatandika mu 1914. Mu mwaka ogwo, waliwo ebintu bingi ebikulu ebyatandika okubaawo. Yesu yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka, era ennaku ez’oluvannyuma ne zitandika. (Kub. 11:15) Okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919, Yesu ne Kitaawe baalambula era ne balongoosa yeekaalu ey’eby’omwoyo.f (Mal. 3:1-4) Okuva mu 1919, eŋŋaano yatandika okukuŋŋaanyizibwa. Kati ekiseera kyali kituuse Kristo okulonda abantu be yandiyitiddemu okuliisa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo.
18. Kiki Yesu kye yasuubiza okukola, era kibuuzo ki ekyajjawo ng’ennaku ez’oluvannyuma zaakatandika?
18 Mu bunnabbi obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma, Yesu yalaga nti yandironze “omuddu” mwe yandiyitidde okuwa abagoberezi be “emmere” ey’eby’omwoyo mu “kiseera ekituufu.” (Mat. 24:45-47) Omuddu oyo yandibadde ani? Nga bwe yakola mu kyasa ekyasooka, Yesu era yandiriisizza bangi ng’ayitira mu batono. Kyokka ennaku ez’oluvannyuma bwe zaali zaakatandika, wajjawo ekibuuzo kino ekikulu, Abatono abo bandibadde baani? Ekibuuzo ekyo awamu n’ebirala ebikwata ku bunnabbi bwa Yesu bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
a Akatundu 3: Ku mulundi omulala Yesu bwe yaliisa abasajja 4,000, nga tobaliddeeko bakazi na baana, era emmere yagiwa ‘abayigirizwa ne bagigabira abantu.’—Mat. 15:32-38.
b Akatundu 7: Mu kiseera kya Peetero, abantu abaali ‘ng’endiga’ abaalina okuliisibwa bonna baalina essuubi ery’okugenda mu ggulu.
c Akatundu 8: Okuba nti abayigirizwa abapya “beeyongeranga okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga,” kiraga nti abatume baayigirizanga obutayosa. Ebimu ku bintu abatume bye baayigirizanga bisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani.
d Akatundu 12: Waliwo Abakristaayo abalala abataali batume abaafuna ebirabo eby’omwoyo. Naye kirabika nti emirundi egisinga, Abakristaayo abo baafunanga ebirabo ebyo butereevu okuva ku batume oba baabifunanga nga bali wamu n’omu ku batume.—Bik. 8:14-18; 10:44, 45.
e Akatundu 13: Ebikolwa by’Abatume 20:29, 30 walaga nti ekibiina Ekikristaayo kyandifunye obulumbaganyi okuva wabweru ne munda. Abakristaayo ab’obulimba (“omuddo”) ‘bandiyingidde’ mu Bakristaayo ab’amazima. Ate era ne mu Bakristaayo ab’amazima “mwennyini” mwandivuddemu bakyewaggula, nga boogera “ebintu ebikyamye.”
f Akatundu 17: Laba ekitundu “Laba! Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna,” mu magazini eno, olupapula 11, akatundu 6.