“Laba! Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna”
“Laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.”—MAT. 28:20.
1. (a) Mu bufunze yogera ku lugero lw’eŋŋaano n’omuddo. (b) Yesu yannyonnyola atya olugero olwo?
MU LUGERO lwe olumu olukwata ku Bwakabaka, Yesu yayogera ku mulimi eyasiga ensigo z’eŋŋaano ennungi naye omulabe n’azisigamu omuddo. Omuddo gwakula ne guba mungi okusinga eŋŋaano, naye omulimi n’agamba abaddu be okubireka “bikulire wamu okutuusa ku makungula.” Mu kiseera ky’amakungula, omuddo gwayokebwa ate yo eŋŋaano n’ekuŋŋaanyizibwa. Yesu yannyonnyola amakulu g’olugero olwo. (Soma Matayo 13:24-30, 37-43.) Kiki kye tuyigira ku lugero olwo? (Laba ekipande “Eŋŋaano n’Omuddo.”)
2. (a) Ebintu ebyogerwako mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo biraga ki? (b) Okusingira ddala ekitundu kino kigenda kwogera ku ki?
2 Ebintu Yesu bye yayogerako mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo biraga engeri Yesu gye yandikuŋŋaanyizzaamu abaafukibwako amafuta, abalinga eŋŋaano era abajja okufugira awamu naye mu Bwakabaka bwe, era biraga ne ddi ekyo lwe kyandibaddewo. Eŋŋaano yatandika okusigibwa ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Okukuŋŋaanya eŋŋaano kujja kukomekkerezebwa ng’abaafukibwako amafuta abanaaba bakyaliwo ku nsi ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu bateekeddwako akabonero akasembayo era ne batwalibwa mu ggulu. (Mat. 24:31; Kub. 7:1-4) Ng’omuntu aba ayimiridde ku lusozi bw’asobola okulengera ewala, n’olugero lwa Yesu olwo lutuyamba okutegeera ebintu ebyandibaddewo mu myaka nga 2,000. Bintu ki ebikwata ku Bwakabaka ebyogerwako mu lugero olwo? Olugero olwo lwogera ku kiseera eky’okusiga, eky’okukula, n’eky’amakungula. Ekitundu kino okusingira ddala kigenda kwogera ku kiseera eky’amakungula.a
YESU ABAKUUMA
3. (a) Kiki ekyaliwo oluvannyuma lw’ekyasa ekyasooka? (b) Okusinziira ku Matayo 13:28, kiki abaddu kye baasaba mukama waabwe, era abaddu abo be baani? (Laba n’obugambo obwa wansi ku lupapula 14.)
3 Ekyasa eky’okubiri bwe kyali kyakatandika, ‘omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano,’ Abakristaayo ab’obulimba, gwatandika okulabika. (Mat. 13:26) Ekyasa eky’okuna we kyatuukira, Abakristaayo abalinga omuddo baali basinga Abakristaayo abaafukibwako amafuta obungi. Kijjukire nti mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo, abaddu baasaba mukama waabwe abakkirize okukuula omuddo mu ŋŋaano.b (Mat. 13:28) Kiki mukama waabwe kye yabagamba?
4. (a) Ekyo Mukama w’abaddu, Yesu, kye yabaddamu kiraga ki? (b) Abakristaayo abalinga eŋŋaano baatandika ddi okweyoleka?
4 Bwe yali ayogera ku ŋŋaano n’omuddo, Yesu yagamba nti: “Mubireke bikulire wamu okutuusa ku makungula.” Ekyo kiraga nti okuva mu kyasa ekyasooka n’okutuusa leero, wabaddengawo Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku nsi abalinga eŋŋaano. Ekyo tukirabira ne mu bigambo Yesu bye yagamba abayigirizwa be oluvannyuma. Yabagamba nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.” (Mat. 28:20) N’olwekyo, Yesu yandikuumye Abakristaayo abaafukibwako amafuta ennaku zonna okutuukira ddala mu kiseera eky’enkomerero. Kyokka okuva bwe kiri nti Abakristaayo ab’obulimba abalinga omuddo baali babuutikidde abaafukibwako amafuta, tetusobola kutegeerera ddala Abakristaayo abalinga eŋŋaano abaaliwo mu kiseera ekyo ekyali ekiwanvu ennyo. Kyokka bwe waali wabula emyaka nga 30 ekiseera ky’amakungula kitandike, Abakristaayo abalinga eŋŋaano baatandika okweyoleka. Baatandika batya okweyoleka?
OMUBAKA ‘ALONGOOSA EKKUBO’
5. Obunnabbi bwa Malaki bwatuukirira butya mu kyasa ekyasooka?
5 Ng’ebula emyaka mingi Yesu ajje ku nsi, Yakuwa yaluŋŋamya nnabbi Malaki okwogera obunnabbi obukwatagana n’ebintu ebyogerwako mu lugero lwa Yesu olw’eŋŋaano n’omuddo. (Soma Malaki 3:1-4.) Yokaana Omubatiza ye ‘mubaka eyalongoosa ekkubo.’ (Mat. 11:10, 11) Yokaana bwe yajja mu mwaka gwa 29 E.E., ekiseera eky’okulamula eggwanga lya Isiraeri kyali kinaatera okutandika. Yesu ye yali omubaka ow’okubiri. Yalongoosa yeekaalu ey’omu Yerusaalemi emirundi ebiri. Omulundi ogwasooka gwaliwo ku ntandikwa y’obuweereza bwe, ate ogw’okubiri gwaliwo ng’anaatera okubumaliriza. (Mat. 21:12, 13; Yok. 2:14-17) Bwe kityo, omulimu gw’okulongoosa yeekaalu eyo gwamala ekiseera kiwanvuko.
6. (a) Obunnabbi bwa Malaki bwatuukirira butya mu kiseera kyaffe? (b) Yesu yalambula ddi yeekaalu ey’eby’omwoyo? (Laba n’obugambo obwa wansi ku lupapula 14.)
6 Obunnabbi bwa Malaki bwatuukirira butya mu kiseera kyaffe? Ng’ebula emyaka egisukka mu 30 omwaka gwa 1914 gutuuke, Ow’oluganda C. T. Russell ne banne baakola omulimu ogufaananako ogwa Yokaana Omubatiza. Kino baakikola nga bafuba okunoonya amazima agali mu Bayibuli. Abayizi ba Bayibuli abo baayamba abantu okumanya amazima agakwata ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo, baakiraga nti enjigiriza egamba nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira si ntuufu, era baalangirira nti Ebiseera by’Ab’amawanga byali binaatera okuggwako. Kyokka mu kiseera ekyo, waaliwo ebibiina by’amadiini bingi ebyali bigamba nti bigoberera Kristo. Kati olwo mu bibiina ebyo byonna, baani abaali ng’eŋŋaano? Okusobola okubategeera, Yesu yatandika okulambula yeekaalu ey’eby’omwoyo mu 1914. Omulimu gw’okulambula yeekaalu ey’eby’omwoyo n’okugirongoosa gwatwala ekiseera ekiwerako, okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919.c
EKISEERA EKY’OKULAMBULA N’OKULONGOOSA
7. Yesu bwe yatandika omulimu gw’okulambula mu 1914, kiki kye yasanga?
7 Yesu bwe yatandika omulimu gw’okulambula, kiki kye yasanga? Yasanga nga waliwo Abayizi ba Bayibuli abaali bamaze emyaka egisukka mu 30 nga bakozesa amaanyi gaabwe n’ebintu byabwe okuwagira omulimu gw’okubuulira.d Nga Yesu ne bamalayika bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okukiraba nti Abakristaayo abo abaalinga eŋŋaano baali tebasaanyiziddwawo muddo Sitaani gwe yasimba! Wadde kyali kityo, “batabani ba Leevi,” nga bano be baafukibwako amafuta, baali beetaaga ‘okulongoosebwa.’ (Mal. 3:2, 3; 1 Peet. 4:17) Lwaki?
8. Biki ebyaliwo mu 1914 ne mu myaka egyaddirira?
8 Omwaka gwa 1914 bwe gwali gunaatera okuggwako, Abayizi ba Bayibuli abamu baggwaamu amaanyi olw’okuba baali tebagenze mu ggulu. Mu 1915 ne 1916, wajjawo okuziyizibwa okw’amaanyi okwava ebweru w’ekibiina okwaleetera omulimu gw’okubuulira okuddirira. Okugatta ku ekyo, wajjawo okuziyizibwa okw’amaanyi okuva mu kibiina mwennyini oluvannyuma lw’okufa kw’Ow’oluganda Russell mu Okitobba 1916. Ab’oluganda bana ku abo omusanvu abaali baweereza nga badayirekita ba Watch Tower Bible and Tract Society baawakanya eky’Ow’oluganda Rutherford okutwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. Baagezaako okuleetawo enjawukana mu b’oluganda, naye mu Agusito 1917, baava ku Beseri. Okwo kwali kulongoosa kwennyini! Ate era, Abayizi ba Bayibuli abamu bekkiriranya olw’okutya abantu. Wadde kyali kityo, Abayizi ba Bayibuli okutwalira awamu bakkiriza Yesu okubalongoosa era baakola enkyukakyuka ezeetaagisa. Bwe kityo, Yesu yatwala Abakristaayo abo ab’amazima okuba eŋŋaano, naye abo bonna abaali beefuula Abakristaayo, nga mw’otwalidde n’abo abaali mu madiini ga Kristendomu, Yesu yabagaana. (Mal. 3:5; 2 Tim. 2:19) Kiki ekyaddirira? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, ka tuddemu twetegereze ebyo ebiri mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo.
KIKI EKIBAAWO NG’EKISEERA KY’AMAKUNGULA KITANDISE?
9, 10. (a) Kiki kye tugenda okwetegereza ekikwata ku kiseera ky’amakungula? (b) Kiki ekyasooka okubaawo mu kiseera ky’amakungula?
9 Yesu yagamba nti: “Amakungula ge mafundikira g’enteekateeka y’ensi.” (Mat. 13:39) Ekiseera ekyo eky’amakungula kyatandika mu 1914. Kati tugenda kwetegereza ebintu bitaano Yesu bye yayogerako ebyandibaddewo mu kiseera ekyo.
10 Ekisooka, okukuŋŋaanya omuddo. Yesu yagamba nti: “Mu kiseera eky’amakungula ndigamba abakunguzi nti, Musooke mukuŋŋaanye omuddo ogufaanana eŋŋaano, mugusibe mu miganda.” Mu 1914, bamalayika baatandika ‘okukuŋŋaanya’ Abakristaayo ab’obulimba abalinga omuddo nga babaawula ku baafukibwako amafuta, ‘abaana b’obwakabaka.’—Mat. 13:30, 38, 41.
11. Mulimu ki ogufudde Abakristaayo ab’amazima ab’enjawulo ku Bakristaayo ab’obulimba?
11 Omulimu gw’okukuŋŋaanya omuddo bwe gwali gugenda mu maaso, enjawulo wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’Abakristaayo ab’obulimba yeeyongera okweyoleka. (Kub. 18:1, 4) Omwaka gwa 1919 we gwatuukira, kyeyoleka lwatu nti Babulooni Ekinene kyali kigudde. Naye okusingira ddala kiki ekyali kifuula Abakristaayo ab’amazima ab’enjawulo ku Bakristaayo b’obulimba? Omulimu gw’okubuulira. Abo abaali batwala obukulembeze mu Bayizi ba Bayibuli baatandika okussa essira ku ky’okuba nti buli omu ku Bayizi ba Bayibuli yeenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, akatabo akayitibwa To Whom the Work Is Entrusted, akaakubibwa mu 1919, kaakubiriza Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta okubuulira nnyumba ku nnyumba. Kaagamba nti: “Kyo kituufu nti omulimu gwe tulina okukola munene nnyo, naye gwa Mukama waffe, era ajja kutuwa amaanyi ageetaagisa okugukola. Nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu ogwo.” Biki ebyavaamu? Magazini ya Watch Tower eyakubibwa mu 1922 yagamba nti Abayizi ba Bayibuli beeyongera okukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu. Okuva olwo n’okutuusa leero, Abakristaayo ab’amazima bamanyiddwa ng’abantu ababuulira nnyumba ku nnyumba.
12. Eŋŋaano yatandika ddi okukuŋŋaanyizibwa?
12 Eky’okubiri, okukuŋŋaanya eŋŋaano. Yesu yagamba bamalayika be nti: “Mukuŋŋaanyize eŋŋaano mu tterekero lyange.” (Mat. 13:30) Okuva mu 1919, abaafukibwako amafuta babadde bakuŋŋaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo ekyazibwawo. Okukuŋŋaanya eŋŋaano kujja kukomekkerezebwa ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abanaaba bakyali ku nsi ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu baweereddwa empeera yaabwe mu ggulu.—Dan. 7:18, 22, 27.
13. Okusinziira ku Okubikkulirwa 18:7 malaaya, oba Babulooni Ekinene nga mw’otwalidde n’amadiini ga Kristendomu, yeetwala atya leero?
13 Eky’okusatu, okukaaba n’okuluma obujiji. Bamalayika bwe bamala okusiba omuddo mu miganda, kiki ekiddirira? Ng’ayogera ku abo abalinga omuddo, Yesu agamba nti: “Eyo gye balikaabira era ne baluma obujiji.” (Mat. 13:42) Ekyo kigenda mu maaso leero? Nedda. Kubanga leero, Kristendomu, nga naye kitundu kya malaaya, akyayogera nti: “Nfuga nga kabaka, siri nnamwandu, era sirikungubaga n’akatono.” (Kub. 18:7) Mu butuufu, amadiini ga Kristendomu gawulira nga galina obuyinza bungi, era geetwala okuba nga “kabaka” alina obuyinza obusukkulumye ku bannabyabufuzi. Mu kiseera kino abo abalinga omuddo bali mu kwewaana, so tebakaaba. Naye ebintu binaatera okukyuka.
Enkolagana ey’oku lusegere amadiini ga Kristendomu gye galina ne bannabyabufuzi enaatera okuggwawo (Laba akatundu 13)
14. (a) Abakristaayo ab’obulimba ‘baliluma ddi obujiji,’ era lwaki? (b) Engeri kati gye tutegeeramu Matayo 13:42 ekwatagana etya n’ebyo ebiri mu Zabbuli 112:10? (Laba obugambo obwa wansi ku lupapula 14.)
14 Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ng’amadiini gonna ag’obulimba gamaze okuzikirizibwa, abantu abanaaba babadde mu madiini ago bajja kwagala okwekweka naye tebajja kufuna wa kwekweka. (Luk. 23:30; Kub. 6:15-17) Oluvannyuma lw’okukiraba nti tebalina ngeri yonna gye bayinza kuwona kuzikirizibwa, bajja kukaaba era ‘bajja kuluma obujiji.’ Nga Yesu bwe yagamba, mu kiseera ekyo, bajja ‘kukuba ebiwoobe.’e—Mat. 24:30; Kub. 1:7.
15. Kiki ekinaatuuka ku muddo, era ekyo kinaabaawo ddi?
15 Eky’okuna, okusuulibwa mu muliro. Kiki ekinaatuuka ku muddo ogusibiddwa mu miganda? Bamalayika bajja ‘kugusuula mu kikoomi ky’omuliro.’ (Mat. 13:42) Ekyo kitegeeza nti gujja kuzikirizibwa. N’olwekyo, abantu abanaaba babadde mu madiini ag’obulimba bajja kuzikirizibwa mu kitundu ekisembayo eky’ekibonyoobonyo ekinene, kwe kugamba, bajja kuzikirizibwa ku Kalumagedoni.—Mal. 4:1.
16, 17. (a) Kintu ki Yesu kye yasembayo okwogerako mu lugero lwe olw’eŋŋaano n’omuddo? (b) Lwaki tugamba nti ekintu ekyo kijja kubaawo mu kiseera kya mu maaso?
16 Eky’okutaano, okwakaayakana. Yesu yakomekkereza obunnabbi bwe n’ebigambo bino: “Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba nga bali mu bwakabaka bwa Kitaabwe.” (Mat. 13:43) Ekyo kinaabaawo ddi era kinaaba wa? Ekyo kijja kubaawo mu kiseera eky’omu maaso, era kijja kubeera mu ggulu so si ku nsi.f Ka tulabe ensonga bbiri lwaki tugamba bwe tutyo.
17 Ensonga esooka, Yesu yagamba nti: “Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana.” Ebigambo “mu kiseera ekyo” bikwata ku kiseera ekintu Yesu kye yali yaakamala okwogerako we kyandibeereddewo, kwe kugamba, ekiseera ‘eky’okusuula omuddo mu kikoomi eky’omuliro.’ Ekyo kya kubaawo mu kitundu ekisembayo eky’ekibonyoobonyo ekinene. N’olwekyo, abaafukibwako amafuta bajja ‘kwakaayakana’ mu kiseera eky’omu maaso. Ensonga ey’okubiri, Yesu yagamba nti abatuukirivu ‘balyakaayakana mu bwakabaka.’ Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti abaafukibwako amafuta bonna abeesigwa abanaaba bakyali ku nsi oluvannyuma lw’ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene bajja kuba bamaze okuteekebwako akabonero akasembayo. Oluvannyuma, nga Yesu bwe yagamba, bajja kukuŋŋaanyizibwa, kwe kugamba, bajja kutwalibwa mu ggulu. (Mat. 24:31) Eyo gye bajja okwakaayakanira “mu bwakabaka bwa Kitaabwe,” era nga wayise akaseera katono oluvannyuma lwa Kalumagedoni, bajja kuba mu abo abanaaba omugole wa Yesu ku ‘mbaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.’—Kub. 19:6-9.
EBYO BYE TUYIZE BITUGANYULA BITYA?
18, 19. Ebyo bye tuyize mu lugero lwa Yesu olukwata ku ŋŋaano n’omuddo bituganyula bitya?
18 Ebyo bye tuyize mu lugero lwa Yesu olukwata ku ŋŋaano n’omuddo bituganyula bitya? Ka tulabeyo engeri ssatu. Engeri esooka, bituyamba okutegeera ensonga lwaki Yakuwa akyaleseewo abantu ababi. Abagumiikirizza okumala ekiseera kiwanvu asobole okuteekateeka “ebibya eby’okusaasira,” nga bano be Bakristaayo abakiikirirwa eŋŋaano.g (Bar. 9:22-24) Engeri ey’okubiri, binyweza okukkiriza kwaffe. Ng’enkomerero egenda esembera, abalabe baffe bajja kweyongera okutulwanyisa, naye ‘tebajja kutuwangula.’ (Soma Yeremiya 1:19.) Okuva bwe kiri nti okumala ebyasa bingi Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, abadde akuuma Abakristaayo abalinga eŋŋaano, naffe tuli bakakafu nti ajja kukozesa Yesu ne bamalayika be okutukuuma ‘ennaku zonna’ okutuukira ddala ku nkomerero.—Mat. 28:20.
19 Engeri ey’okusatu, olugero lwa yesu olukwata ku ŋŋaano n’omuddo lutuyamba okutegeera abo abakiikirirwa eŋŋaano. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Kikulu kubanga okutegeera abo abakiikirirwa eŋŋaano kituyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo Yesu kye yabuuza bwe yali ayogera ku nnaku ez’oluvannyuma. Yabuuza nti: “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani?” (Mat. 24:45) Ebitundu ebibiri ebiddako bijja kutuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.
a Akatundu 2: Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku makulu g’ebintu ebirala ebyogerwako mu lugero olwo, laba ekitundu “Abatuukirivu Balyakaayakana ng’Enjuba” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 15, 2010.
b Akatundu 3: Okuva bwe kiri nti abatume ba Yesu baali bafudde ate ng’abaafukibwako amafuta abaali ku nsi baali bakiikirirwa ŋŋaano, so si baddu, abaddu aboogerwako mu lugero olwo bateekwa okuba nga bakiikirira bamalayika. Oluvannyuma Yesu yakiraga nti abakunguzi be bamalayika.—Mat. 13:39.
c Akatundu 6: Kino kikyusaamu mu ekyo kye twali tulowooza emabega. Twali tulowooza nti Yesu yalambula yeekaalu ey’eby’omwoyo mu 1918.
d Akatundu 7: Okuva mu 1910 okutuuka mu 1914, Abayizi ba Bayibuli baagaba ebitabo nga 4,000,000 ne tulakiti awamu n’obutabo obulala ebisukka mu 200,000,000.
e Akatundu 14: Kino kikyusaamu mu ngeri gye tubadde tutegeeramu Matayo 13:42. Ebitabo byaffe bibadde biraga nti Abakristaayo ab’obulimba bamaze emyaka mingi nga ‘bakaaba era nga baluma obujiji,’ olw’okuba ‘abaana b’obwakabaka’ babaanika eri abantu nti ‘baana ba mubi.’ (Mat. 13:38) Kyokka weetegereze nti ebigambo okuluma obujiji bikwataganyizibwa na kuzikirizibwa.—Zab. 112:10.
f Akatundu 16: Danyeri 12:3 wagamba nti: “Abo abalina amagezi [Abakristaayo abaafukibwako amafuta] balyakaayakana ng’okumasamasa okw’omu bbanga.” Bwe baba bakyali ku nsi, baakaayakana nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Naye Matayo 13:43 woogera ku kiseera lwe balyakaayakana mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Emabegako twali tulowooza nti ebyawandiikibwa ebyo byombi byogera ku kintu kye kimu, omulimu gw’okubuulira.
g Akatundu 18: Laba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, olupapula 288-289.