ESSUULA 24
“Tewali Kiyinza Kutwawukanya ku Kwagala kwa Katonda”
1. Kiki bangi kye balowooza nga mw’otwalidde n’Abakristaayo abamu ab’amazima?
DDALA Yakuwa Katonda akwagala ng’omuntu kinnoomu? Abamu bakkiriza nti Katonda ayagala abantu bonna, nga Yokaana 3:16 bwe lugamba. Kyokka bagamba nti: ‘Katonda tayinza kunjagala nze ng’omuntu kinnoomu.’ N’Abakristaayo ab’amazima emirundi egimu bayinza okubuusabuusa obanga Katonda abaagala. Omusajja omu eyali aweddemu amaanyi yagamba nti: “Kinzibuwalira okukkiriza nti Katonda anfaako.” Emirundi egimu naawe bw’otyo bw’olowooza?
2, 3. Ani ayagala tulowooze nti tetulina mugaso oba nti Yakuwa tatwagala, era tuyinza tutya okuvvuunuka endowooza eyo?
2 Sitaani ayagala tulowooze nti Yakuwa Katonda tatwagala era nti tatutwala nga tuli ba muwendo. Atera okusendasenda abantu ng’abaleetera okuba n’endowooza enkyamu. (2 Abakkolinso 11:3) Emirundi mingi ekyo akikola ng’abaleetera okwetwala nti ba waggulu ku balala. Ate era aleetera abantu okulowooza nti tebalina mugaso. (Yokaana 7:47-49; 8:13, 44) Kino bwe kiri, naddala mu “nnaku ez’enkomerero.” Bangi leero baakulira mu maka omutaali kwagala. Abalala buli lunaku babeera mu bantu abakambwe, abeefaako bokka, era abakakanyavu. (2 Timoseewo 3:1-5) Olw’okuba abamu bamaze ekiseera kiwanvu nga bayisibwa bubi oba nga basosolwa, kibaleetera okulowooza nti tebalina mugaso oba nti tewali n’omu ayinza kubaagala.
3 Bw’oba nga bw’otyo bw’owulira, toggwaamu maanyi. Emirundi egimu bangi ku ffe tuwulira bwe tutyo. Naye kijjukire nti Ekigambo kya Katonda kisobola ‘okutereeza ebintu’ ‘n’okusiguukulula ebintu ebyasimba amakanda.’ (2 Timoseewo 3:16; 2 Abakkolinso 10:4) Bayibuli egamba nti: “Tujja kukakasa emitima gyaffe mu maaso ge mu buli kintu emitima gyaffe kye gitusalira omusango, kubanga Katonda asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.” (1 Yokaana 3:19, 20) Ka twekenneenye engeri nnya, Ebyawandiikibwa mwe bituyambira ‘okukakasa emitima gyaffe’ nti Yakuwa atwagala.
Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo
4, 5. Ekyokulabirako kya Yesu ekikwata ku nkazaluggya kiraga kitya nti tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda?
4 Esooka, Bayibuli eraga nti Katonda buli muweereza we amutwala nga wa muwendo. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: “Enkazaluggya ebbiri tezigula ssente emu ey’omuwendo omutono ennyo? Kyokka tewali n’emu egwa ku ttaka nga Kitammwe tamanyi. Naye mmwe n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa. N’olwekyo temutya; muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29-31) Abo abaali bawuliriza Yesu, ebigambo ebyo byabakwatako bitya?
“Muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi”
5 Tuyinza okwebuuza ensonga lwaki omuntu yenna yandiguze enkazaluggya. Mu kiseera kya Yesu, enkazaluggya ye yali esinga okuba ey’ebbeeyi entono mu binyonyi ebiriibwa ebyatundibwanga. Weetegereze nti ssente emu yasobolanga okugula enkazaluggya bbiri. Naye oluvannyuma Yesu yagamba nti omuntu eyalina ssente bbiri, yali asobola okugula enkazaluggya ttaano so si nnya. Akanyonyi ak’okutaano kaagattibwako nga gy’obeera tekaalina muwendo gwonna. Oboolyawo obunyonyi ng’obwo tebwali bwa muwendo mu maaso g’abantu, naye ye Omutonzi yali abutwala atya? Yesu yagamba nti: “Tewali n’emu ku zo [wadde eyo eyagattibwako] Katonda gye yeerabira.” (Lukka 12:6, 7) Ekyo kituyamba okutegeera ensonga Yesu gye yali ayogerako. Bwe kiba nti Yakuwa atwala enkazaluggya emu okuba ey’omuwendo ennyo, omuntu si wa muwendo nnyo n’okusingawo! Nga Yesu bwe yannyonnyola, Yakuwa amanyi byonna ebitukwatako. Amanyi n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mutwe gwaffe!
6. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu yali tasavuwaza bwe yagamba nti omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyaffe gumanyiddwa?
6 Katonda amanyi omuwendo gw’enviiri zaffe? Abamu bayinza okulowooza nti wano Yesu yali asavuwaza. Kyokka lowooza ku ssuubi ery’okuzuukira. Yakuwa ateekwa okuba ng’atumanyi bulungi nnyo okusobola okuddamu okututonda. Atutwala nga tuli ba muwendo nnyo ne kiba nti amanyi kalonda yenna atukwatako, nga mw’otwalidde n’ebiwandiiko byaffe eby’ensikirano (oba endagabutonde), era ne byonna bye twali tulowooza, n’ebyatutuukako mu bulamu bwaffe bwonna.a N’olwekyo, okubala enviiri zaffe kiba kintu kyangu nnyo gy’ali, kubanga kigambibwa nti omutwe gw’omuntu gubaako enviiri nga 100,000.
Kiki eky’Omuwendo Yakuwa ky’Atulabamu?
7, 8. (a) Ngeri ki Yakuwa z’asanyukira okulaba ng’akebera emitima gy’abantu? (b) Bikolwa ki Yakuwa by’atwala nga bya muwendo?
7 Eky’okubiri, Bayibuli eraga ekyo Yakuwa ky’atwala ng’eky’omuwendo mu baweereza be. Asanyukira engeri zaffe ennungi n’engeri gye tufubamu okukola by’ayagala. Kabaka Dawudi yagamba mutabani we Sulemaani nti: “Yakuwa akebera emitima gyonna era ategeera ebirowoozo n’ebigendererwa byonna.” (1 Ebyomumirembe 28:9) Okuva bwe kiri nti Katonda akebera obuwumbi n’obuwumbi bw’emitima gy’abantu mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obukambwe n’obukyayi, ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo bw’alaba omutima ogwagala emirembe, amazima, n’obutuukirivu! Kiki ekibaawo Katonda bw’alaba omutima ogumwagala ennyo, ogwagala okuyiga ebimukwatako, n’okubibuulirako abalala? Bayibuli eraga nti Yakuwa yeetegereza abo ababuulira abalala ebimukwatako. Era alina ‘n’ekitabo’ eky’abo ‘abamutya n’abo abalowooza ku linnya lye.’ (Malaki 3:16) Engeri ng’ezo za muwendo gy’ali.
8 Bikolwa ki ebirungi Yakuwa by’atwala nga bya muwendo? Bwe tufuba okukoppa Omwana we, Yesu Kristo, akitwala nga kya muwendo. (1 Peetero 2:21) Omulimu ogumu omukulu ennyo Katonda gw’atwala ng’ogw’omuwendo, kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Abaruumi 10:15, wagamba nti: “Ebigere by’abo abalangirira amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi nga birabika bulungi!” Tuyinza obutalowooza ku bigere byaffe okuba ‘ebirungi.’ Naye wano, bikiikirira okufuba kw’abaweereza ba Yakuwa mu kubuulira amawulire amalungi. Okufuba ng’okwo, kulungi era kwa muwendo mu maaso ge.—Matayo 24:14; 28:19, 20.
9, 10. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti obugumiikiriza bwaffe Yakuwa abutwala nga bwa muwendo? (b) Kiki Yakuwa ky’atakola bw’akebera emitima gy’abaweereza be?
9 Obugumiikiriza bwaffe nabwo Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. (Matayo 24:13) Jjukira nti Sitaani ayagala ove ku Yakuwa. Buli lunaku lw’obeera omwesigwa eri Yakuwa, oba oyambye Yakuwa okulaga Sitaani nti bye yayogera bya bulimba. (Engero 27:11) Emirundi egimu si kyangu okubeera abagumiikiriza. Obulwadde, ebizibu by’eby’enfuna, okulumizibwa mu birowoozo, n’ebizibu ebirala biyinza okukugezesa buli lunaku. By’osuubira bwe birwawo okutuukirira nakyo kiyinza okukumalamu amaanyi. (Engero 13:12) Bw’ogumiikiriza ng’oyolekagana n’ebizibu ng’ebyo Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo nnyo. Eyo ye nsonga lwaki Kabaka Dawudi yasaba Yakuwa okuteeka amaziga ge ‘mu nsawo ye ey’eddiba,’ era n’agattako nti: “Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?” (Zabbuli 56:8) Yakuwa ajjukira amaziga gaffe n’engeri gye tufuba okusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa era abitwala nga bya muwendo.
Yakuwa asiima obugumiikiriza bwaffe nga twolekaganye n’okugezesebwa
10 Wadde nga waliwo obukakafu obulaga nti Yakuwa atutwala nti tuli ba muwendo, omutima gwaffe guyinza okutuleetera okuwulira nti tetuli ba mugaso. Muli tuyinza okugamba nti: ‘Waliwo abalala bangi abataddewo ekyokulabirako ekisinga ekyange obulungi. Yakuwa ateekwa okuba nga tansiima bw’angeraageranya nabo!’ Yakuwa tageraageranya baweereza be mu ngeri eyo, era tatusuubira kukola ekyo kye tutasobola. (Abaggalatiya 6:4) Bw’akebera emitima gyaffe, tabuusa maaso birungi ebigirimu ka bibe bitono bitya.
Yakuwa Atunoonyamu Ebirungi
11. Kiki kye tuyiga ku Yakuwa bwe tulowooza ku ngeri gye yayisaamu Abiya?
11 Eky’okusatu, Yakuwa bw’aba atukebera, atunoonyamu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yasalawo okuzikiriza ab’ennyumba ya Kabaka Yerobowaamu, yalagira nti Abiya omu ku batabani ba Yerobowaamu aziikibwe bulungi. Lwaki? Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri gw’alabyemu ekirungi.” (1 Bassekabaka 14:1, 10-13) Bwe kityo, Yakuwa yakebera omutima gw’omuvubuka oyo era n’alabamu “ekirungi.” Ka kibe nti ekirungi ekyo kyali kitono kitya, Yakuwa yalaba nti kyali kisaanira okuteekebwa mu Kigambo kye. Era yasasula Abiya, ng’amulaga obusaasizi era ng’akakasa nti aziikibwa mu ngeri ey’ekitiibwa.
12, 13. (a) Ebyaliwo ku Kabaka Yekosafaati biraga bitya nti Yakuwa atunoonyaamu ebirungi ne bwe tuba nga tusobezza? (b) Yakuwa atwala atya engeri zaffe ennungi n’ebikolwa byaffe, era kiki ky’atakola?
12 Ate lowooza ku Kabaka Yekosafaati. Bwe yakola ekintu ekitaali kya magezi, nnabbi wa Yakuwa yamugamba nti: “Yakuwa akusunguwalidde.” Ng’ebigambo ebyo byali byeraliikiriza! Naye obubaka bwa Yakuwa tebwakoma awo. Era yamugamba nti: “Katonda akulabyemu ebirungi.” (2 Ebyomumirembe 19:1-3) N’olwekyo, wadde Yakuwa yali asunguwalidde Yekosafaati, teyeerabira birungi bye yakola. Nga Yakuwa wa njawulo nnyo ku bantu abatatuukiridde! Abalala bwe batunyiiza, tuyinza okwerabira engeri ennungi ze balina. Bwe twonoona, tuyinza okuggwaamu amaanyi, ne tuswala, era ne tulumirizibwa omutima, ekyo ne kituviirako obutalaba ngeri ennungi ze tulina. Naye kikulu okukijjukira nti bwe twenenya ebibi byaffe, ne tufuba obutabiddamu, Yakuwa atusonyiwa.
13 Yakuwa bw’aba akukebera, asuula eri ebibi ebyo, ng’omuntu anoonya zzaabu bw’asuula eri amayinja agatali ga muwendo. Ate atwala atya engeri zo ennungi n’ebikolwa byo ebirungi? Ago ge mayinja ‘ag’omuwendo’ g’asigaza! Ng’ekyokulabirako, abazadde basiima nnyo ebifaananyi abaana baabwe bye bakuba era babitereka okumala ekiseera kiwanvu. Yakuwa ye muzadde asingayo okwagala abaana be. Kasita tusigala nga tuli beesigwa gy’ali, tayinza kwerabira ngeri zaffe ennungi n’ebikolwa byaffe ebirungi. Mu butuufu, okubyerabira akitwala ng’ekikolwa ekitali kya butuukirivu. Kyokka tukimanyi nti Yakuwa mutuukirivu. (Abebbulaniya 6:10) Naye era waliwo n’engeri endala Yakuwa gy’atukeberamu.
14, 15. (a) Lwaki Yakuwa atutwala nga tuli ba muwendo wadde nga tetutuukiridde? Waayo ekyokulabirako. (b) Yakuwa akola ki bw’atulabamu engeri ennungi, era abantu be abeesigwa abatunuulira atya?
14 Yakuwa tatunuulira butali butuukirivu bwaffe, wabula atunuulira ekyo kye tusobola okubeera. Ng’ekyokulabirako, abantu abaagala ennyo ebifaananyi ebisiige bakola kyonna ekisoboka okubiddaabiriza nga byonoonese. Lowooza ku kino ekyaliwo: mu kifo ekiyitibwa National Gallery, ekiri mu Bungereza mu kibuga London, mwe booleseza ebifaananyi ebisiige n’ebintu ebirala, omuntu omu yayonoona ekifaananyi kya Leonardo da Vinci ekyali kibalirirwamu obukadde bwa doola 30. Tewali n’omu yagamba nti kisuulibwe olw’okuba kyali kyonoonese. Baatandikirawo okuddaabiriza ekifaananyi ekyo ekyali kyakamala emyaka nga 500. Lwaki? Kubanga kyali kya muwendo eri abaagala ebifaananyi ebisiige. Toli wa muwendo nnyo n’okusinga ekifaananyi ekyo? Mazima ddala mu maaso ga Katonda oli wa muwendo nnyo, k’obe ng’oyonooneddwa otya ekibi ekisikire. (Zabbuli 72:12-14) Yakuwa Katonda, Omutonzi waffe, ajja kuggyawo ekibi era ajja kuyamba abo abamwagala era abamugondera okufuuka abatuukiridde.—Ebikolwa 3:21; Abaruumi 8:20-22.
15 Mazima ddala Yakuwa atulabamu ebirungi ffe bye tuyinza okuba nga tetwerabamu. Era bwe tumuweereza n’obwesigwa, ajja kutuyamba okweyongera okukulaakulanya engeri ennungi ze tulina okutuusa lwe tulifuuka abatuukiridde. Ensi ya Sitaani k’ebe ng’etuyisizza etya, Yakuwa atwala abaweereza be abeesigwa nga ba muwendo.—Kaggayi 2:7.
Yakuwa Ayoleka Okwagala Kwe
16. Kiki ekisinga okulaga nti Yakuwa atwagala, era tumanya tutya nti ekirabo kino yakituwa ng’abantu kinnoomu?
16 Eky’okuna, Yakuwa alina by’akola okulaga nti atwagala. Mazima ddala, ssaddaaka ya Kristo y’esinga okulaga nti Sitaani by’ayogera nti tetulina mugaso oba nti tetuyinza kwagalibwa, bya bulimba. Bulijjo tusaanidde okukijjukira nti obulumi Yesu bwe yayitamu ng’attibwa era n’obulumi Yakuwa bwe yafuna ng’alaba Omwana we attibwa, bikakasa nti batwagala nnyo. Eky’ennaku, bangi kibazibuwalira okukkiriza nti ekirabo ekyo kyali kyabwe ng’abantu kinnoomu. Bawulira nti si ba mugaso. Kyokka, jjukira nti omutume Pawulo yayigganya nnyo abagoberezi ba Kristo. Naye yagamba nti: ‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’—Abaggalatiya 1:13; 2:20.
17. Yakuwa ayitira mu ki okutusembeza gy’ali n’eri Omwana we?
17 Yakuwa atukakasa nti atwagala ng’atuyamba kinnoomu okuganyulwa mu ssaddaaka ya Kristo. Yesu yagamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” (Yokaana 6:44) Yakuwa kennyini atusembeza eri Omwana we era atuwa essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Mu ngeri ki? Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira ogutuganyula kinnoomu, n’okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, gw’akozesa okutuyamba okutegeera n’okukolera ku mazima ge tuyiga wadde nga tetutuukiridde. Bwe kityo, Yakuwa ayinza okutwogerako nga bwe yayogera ku Isirayiri nti: “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo. Kyenvudde nkusembeza gye ndi n’okwagala okutajjulukuka.”—Yeremiya 31:3.
18, 19. (a) Ekimu ku bintu ebisinga okukiraga nti Yakuwa atwagala kye ki, era kiki ekiraga nti atufaako kinnoomu? (b) Ekigambo kya Katonda kitukakasa kitya nti Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe?
18 Okusaba kye kimu ku bintu ebisinga okutulaga nti Yakuwa atwagala. Bayibuli ekubiriza buli omu ku ffe ‘okusabanga obutayosa.’ (1 Abassessalonika 5:17) Atuwuliriza, era ayitibwa Oyo “Awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Obuvunaanyizibwa bw’okuwuliriza okusaba tabuwadde muntu mulala yenna, wadde Omwana we. Kirowoozeeko: Omutonzi w’ebintu byonna atukubiriza okumutuukirira mu kusaba, awatali kutya. Akoma ku kuwuliriza buwuliriza naye nga tafaayo ku ebyo bye tuyitamu? Nedda.
19 Yakuwa alumirirwa abalala. Okulumirirwa abalala kye ki? Omukristaayo omu omwesigwa yagamba nti: “Okulumirirwa omuntu kwe kuwulira obulumi bwe mu mutima gwange.” Bwe tuba mu bulumi Yakuwa naye alumwa? Weetegereze bwe yawulira ng’abantu be Abayisirayiri babonaabona. Bayibuli egamba nti: “Mu kubonaabona kwabwe kwonna yalumwanga.” (Isaaya 63:9) Yakuwa teyakoma ku kulaba nnaku yaabwe kyokka naye era yalumwa. Mu kyawandiikibwa ekirala yayogera bw’ati ku ba baweereza be: “Buli abakwatako mmwe aba akutte ku mmunye y’eriiso lyange.”b (Zekkaliya 2:8) Okukwata ku mmunye kireeta obulumi bwa maanyi! Mazima ddala, Yakuwa atulumirirwa. Bwe tulumwa naye alumwa.
20. Ndowooza ki etali nnuŋŋamu gye tuteekwa okwewala bwe tuba ab’okukolera ku kubuulirira okuli mu Abaruumi 12:3?
20 Tewali Mukristaayo yenna mukulu mu by’omwoyo eyandyetutte nti wa kitalo nnyo olw’okuba Yakuwa amwagala. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Okuyitira mu kisa eky’ensusso ekyandagibwa, ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo, naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu, okusinziira ku kukkiriza Katonda kw’amuwadde.” (Abaruumi 12:3) Enkyusa endala egamba nti: “Ŋŋamba buli omu ku mmwe obuteerowoozaako ekiyitiridde, naye yeerowoozeeko mu ngeri ey’ekigero.” (A Translation in the Language of the People eya Charles B. Williams) N’olwekyo, wadde nga Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu era n’okukijjukira nti okwagala kwa Katonda tekutusaanira.—Lukka 17:10.
21. Bulimba ki obwa Sitaani bwe tuteekwa okwesamba, era bukakafu ki okuva eri Yakuwa bwe tusaanidde okukkiriza?
21 Ka buli omu ku ffe akole kyonna ky’asobola okwesamba obulimba bwa Sitaani bwonna, nga mw’otwalidde n’obwo obugamba nti tetulina mugaso era nti tetwagalibwa. By’oyiseemu mu bulamu bwe biba bikuleetedde okulowooza nti tosaana kwagalibwa Katonda, oba nti ebikolwa byo ebirungi si bikulu ne kiba nti Katonda tabiraba, oba nti ebibi byo bingi nnyo ne kiba nti n’okufa kw’Omwana we ow’omuwendo tekuyinza kukuleetera kusonyiyibwa, olimbiddwa. Weesambire ddala obulimba obwo! Ka tweyongere okukakasa emitima gyaffe n’ebigambo bya Pawulo bino: “Ndi mukakafu nti ka kube kufa, oba bulamu, oba bamalayika, oba bufuzi, oba ebintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja, oba maanyi, oba bugulumivu, oba buziba, oba ekitonde ekirala kyonna, tewali kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.”—Abaruumi 8:38, 39.
a Enfunda n’enfunda Bayibuli ekwataganya essuubi ly’okuzuukira n’ebyo Yakuwa by’ajjukira. Yobu, omusajja omwesigwa, yagamba Yakuwa nti: “Singa . . . ongerera ekiseera, n’onzijukira!” (Yobu 14:13) Yesu yayogera ku kuzuukira ‘kw’abo bonna abali mu ntaana ez’ekijjukizo.’ Ekyo kituukirawo kubanga Yakuwa ajjukira bulungi abo bonna b’agenda okuzuukiza.—Yokaana 5:28, 29, obugambo obuli wansi.
b Enkyusa ezimu wano zigamba nti akwata ku bantu ba Katonda, aba takwata ku mmunye y’eriiso lya Katonda, wabula ey’eriiso lye oba erya Isirayiri. Ensobi eno yajjawo abawandiisi abamu bwe baalowooza nti ebigambo ebyo si bituufu era bwe kityo ne babikyusaamu. Endowooza yaabwe enkyamu, teyaggyayo makulu agalaga nti Yakuwa atulumirirwa nnyo.