LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Jjuuni lup. 7
  • Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Similar Material
  • Mikwano Gyo ku Intaneeti Be Baani?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Emikutu Emigattabantu gya Bulabe eri Omwana Wo?—Engeri Bayibuli gy’Esobola Okuyamba Abazadde
    Ensonga Endala
  • Teweetwala Kuba wa Waggulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Tekinologiya Akutte Atya ku Mikwano Gyo?
    Zuukuka!—2021
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Jjuuni lup. 7

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi

Yesu agaana okufuula amayinja emmere

LWAKI KIKULU: Okufaananako ebintu ebirala, emikutu emigattabantu gisobola okuba egy’omugaso, naye era gisobola okuba egy’obulabe. Abakristaayo abamu basalawo obutagikozesa. Ate abalala bagikozesa okuwuliziganya n’ab’eŋŋanda zaabwe awamu ne mikwano gyabwe. Kyokka, Sitaani ayagala tukozese bubi emikutu egyo, kiviireko enkolagana yaffe ne Yakuwa okwonooneka. Okufaananako Yesu, naffe tusaanidde okukozesa emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda ne tusobola okulaba akabi era ne tukeewala.​—Luk 4:4, 8, 12.

BYE TUSAANIDDE OKWEWALA:

  • Okumala ebiseera ebingi ku mikutu emigattabantu. Bwe tumala ebiseera ebingi ku mikutu egyo, kiyinza okutulemesa okufuna obudde obwetaagisa okukola ebintu eby’omwoyo

    Emisingi: Bef 5:15, 16; Baf 1:10

  • Okulaba oba okusoma ebintu ebitasaana. Okulaba oba okusoma ebintu ng’ebyo kiyinza okutuviirako okufuna omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, oba okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ate era, okusoma ebintu bya bakyewaggula kiyinza okunafuya okukkiriza kwaffe

    Emisingi: Mat 5:28; Baf 4:8

  • Okuteekako obubaka oba ebifaananyi ebitasaana. Olw’okuba omutima mulimba, guyinza okuleetera omuntu okuteeka ku mikutu egyo ebigambo oba ebifaananyi ebitasaana. Ekyo kiyinza okwonoona erinnya lye, oba okumuviirako okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa

    Emisingi: Bar 14:13; Bef 4:29

MULABE VIDIYO, EMIKUTU EMIGATTABANTU GIKOZESE MU NGERI EY’AMAGEZI, ERA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU NGERI Y’OKWEWALAMU EMBEERA ZINO:

Omubbi akozesa omukutu omugattabantu okumanya nti nnannyini maka taliiyo
Omusajja alaba ebintu ebitasaana oyo asaba omulimu bye yassa ku mukutu
Asanga ebigambo ebibi ku mukutu omugattabantu
Akozesa ennyo omukutu omugattabantu azibuwalirwa okuyimuka ku makya
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share