LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb22 Maaki lup. 9
  • Mikwano Gyo ku Intaneeti Be Baani?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mikwano Gyo ku Intaneeti Be Baani?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Similar Material
  • Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gukozese mu Kwesomesa ne mu Kusinza kw’Amaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Weegendereze ng’Olonda Emikwano
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okukuuma Emikwano mu Nsi Etaliimu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Maaki lup. 9

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Mikwano Gyo ku Intaneeti Be Baani?

Ow’omukwano ye muntu gw’oyagala ennyo era gw’ofaako. Ng’ekyokulabirako, Dawudi ne Yonasaani baafuuka ba mukwano nnyo oluvannyuma lwa Dawudi okutta Goliyaasi. (1Sa 18:1) Buli omu ku bo yalina engeri ennungi munne ze yali ayagala. N’olwekyo okuba mukwano gw’omuntu owa nnamaddala, kyesigamye ku kuba nti omumanyi bulungi. Okumanya obulungi omuntu omulala kyetaagisa okufuba era kitwala ekiseera. Kyokka ku mikutu emigattabantu, abantu basobola okweyita ab’emikwano oluvannyuma lw’okumanyagana okumala akaseera katono nnyo. Olw’okuba ku mikutu egyo abantu basobola okuteekateeka ebyo bye baba bagenda okwogera, era n’okukweka ebyo bye bataagala balala bamanye, kibabeerera kyangu nnyo okukweka ekyo kyennyini kye bali. N’olwekyo, kiba kikulu okwegendereza abantu b’ofuula mikwano gyo ku mikutu egyo. Omuntu gw’otomanyi totya kugaana kumufuula mukwano gwo, olw’okuba otya nti oyinza okumulumya. Olw’okwagala okwewala ebizibu ebiyinza okuvaamu, abamu basalawo obutakozesa mikutu migattabantu. Naye bw’osalawo okukozesa emikutu egyo, biki by’osaanidde okulowoozaako?

MULABE VIDIYO, EMIKUTU EMIGATTABANTU GIKOZESE MU NGERI EY’AMAGEZI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi.” Omuwala ng’atidde ng’alaba ebifaananyi bye ku Tiivi.

    Kiki ky’osaanidde okulowoozaako nga tonnabaako bigambo oba bifaananyi by’oteeka ku mikutu emigattabantu?

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi.” Minzaani ng’eriko ekifaananyi ky’omuwala ekisikiriza ku luuyi olumu ate ku luuyi olulala nga kuliko ssente. Minzaani nga yeekubidde ku luuyi oluliko ekifaananyi ky’omuwala.

    Lwaki osaanidde okwegendereza ng’olonda abo b’onoofuula mikwano gyo ku mikutu emigattabantu?

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi.” Abasajja babiri nga balaga omuvubuka ekifaananyi ekiri ku Intaneeti ng’omuvubuka abisse ku maaso.

    Lwaki osaanidde okussaawo ekkomo ku biseera by’omala ku mikutu emigattabantu?​—Bef 5:15, 16

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share