EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 10-11
Olugero lw’Omusamaliya Omulungi
Yesu yawa olugero luno ng’addamu ekibuuzo omusajja omu kye yamubuuza nti, “Muliraanwa wange y’ani?” (Luk 10:25-29) Yesu yali akimanyi nti ekibiina Ekikristaayo kyandibaddemu “abantu aba buli kika,” nga mw’otwalidde Abasamaliya n’ab’Amawanga. (Yok 12:32) Okuyitira mu lugero olwo, Yesu yayigiriza abagoberezi be nti basaanidde okwagala abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo abayinza okuba ab’enjawulo ennyo ku bo.
WEEBUUZE:
- ‘Baganda bange ne bannyinaze ab’amawanga amalala mbatwala ntya?’ 
- ‘Obudde obusinga obungi mbumala n’abo bokka abalina bye tufaanaganya?’ 
- ‘Nsobola okugaziwa mu mutima gwange ne nfuba okumanya Bakristaayo bannange abava mu mbeera ez’enjawulo?’ (2Ko 6:13) 
Ani gwe nsobola okuyita ajje . . .
- tukoleko ffembi mu buweereza? 
- tuliireko wamu naye? 
- atwegatteko mu Kusinza kw’Amaka okuddako?