EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 14-16
Olugero lw’Omwana Eyali Azaaye
Bye tuyinza okuyiga mu lugero luno.
Kya magezi okusigala mu bantu ba Katonda we tufunira obukuumi mu by’omwoyo, tusobole okusigala nga tulabirirwa Kitaffe ow’omu ggulu
Bwe tuva ku Yakuwa, tusaanidde okudda gy’ali nga tuli bakakafu nti mwetegefu okutusonyiwa
Tusaanidde okukoppa Yakuwa nga naffe twaniriza abo abeenenya ne bakomawo mu kibiina