LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Agusito lup. 8
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukozesa JW.ORG

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukozesa JW.ORG
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Similar Material
  • Funa Amagezi Agasobola Okukuyamba mu Bulamu Obwa Bulijjo ku JW.ORG
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Wa we tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?
    Wa we tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?
  • Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Wali Weebuuzizza?
    Zuukuka!—2019
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Agusito lup. 8
Ow’oluganda awa omusajja kaadi eragirira abantu ku jw.org

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okukozesa JW.ORG

LWAKI KIKULU?: Obutabo bwonna bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli buliko endagiriro y’omukutu gwaffe. Ekigendererwa ekikulu ekya kaadi eragirira abantu ku jw.org, ne tulakiti Wa We Tusobola Okufuna eby’Okuddamu mu Bibuuzo Ebikulu Ennyo mu Bulamu?, kwe kuyamba abantu okumanya omukutu gwaffe. Osobola okukozesa jw.org okuweereza omuntu akatabo ku e-mail ye, oba okumuweereza link ye kennyini n’agenda ku mukutu gwaffe n’akafuna; naddala ng’osanze omuntu ayogera olulimi olulala. Ate era, osobola okukozesa omukutu gwaffe okuddamu ekibuuzo kye bakubuuzizza nga tekiddibwamu mu butabo bwe tukozesa nga tuyigiriza abantu Bayibuli. Bwe tukozesa obulungi omukutu gwaffe, kijja kutuyamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Omuntu akozesa kaadi eragirira abantu ku jw.org

    Okukozesa ekitundu, “ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI.” Tugambe nti obuulira omuzadde ayagala okumanya ebisingawo ku ngeri y’okukuzaamu abaana. Genda ku ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > OBUFUMBO N’AMAKA.

  • Okukozesa ekitundu, “EBITABO.” Tugambe nti obuulira mbagirawo ku ssomero era ng’oyagala okubaako by’obuulira muyizi munno okuva mu brocuwa, Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu. Genda ku EBITABO > EBITABO N’OBUTABO EBINNYONNYOLA BAYIBULI.

  • Okukozesa ekitundu, “EBITUKWATAKO.” Ka tugambe nti obuulira mukozi munno eyandyagadde okumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Genda ku EBITUKWATAKO.

MULABE VIDIYO, OKUKOZESA JW.ORG, OLUVANNYUMA OBUUZE ABAWULIRIZA WA WE BAYINZA OKUGENDA NGA BAAGALA OKUYAMBA:

  • omuntu atakkiririza mu Katonda

  • omuntu afunye ekizibu eky’amaanyi

  • ow’oluganda oba mwannyinaffe eyaggwaamu amaanyi

  • omuntu akubuuzizza we tujja ssente ze tukozesa mu mulimu gwaffe

  • omuntu ava mu nsi endala ng’ayagala okumanya w’ayinza okukuŋŋaanira mu kitundu ky’ewaabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share