OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Funa Amagezi Agasobola Okukuyamba mu Bulamu Obwa Bulijjo ku JW.ORG
Ekigambo kya Katonda kirimu ebintu ebituyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo mu nnaku zino enzibu, ez’enkomerero. (2Ti 3:1, 16, 17) Wadde kiri kityo, oluusi tuyinza okwetaaga obuyambi okusobola okumanya emisingi egiyinza okutuyamba mu mbeera gye tubaamu. Ng’ekyokulabirako, oli muzadde era ng’onoonya amagezi agayinza okukuyamba okukuza obulungi abaana bo? Oli muvubuka ayolekagana n’ebintu ebigezesa okukkiriza kwo? Olina ennaku olw’okufiirwa omwami wo oba mukyala wo? Ku jw.org kuliko ebintu ebitali bimu ebisobola okukuyamba okufuna emisingi gya Bayibuli egiyinza okukuyamba mu mbeera ng’ezo, n’endala nnyingi.—Nge 2:3-6.
Awatandikirwa ku jw.org/lg, genda ku ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI. (Laba ekifaananyi ekisooka 1.) Ku ebyo ebiri wansi w’ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI, londako ky’oyagala, oba genda ku LAYIBULALE > EBIRALA EBY’OKUSOMA, oluvannyuma olondeko ky’oyagala. (Laba ekifaananyi 2.) Osobola okugoberera enkola y’emu ne ku JW Library®.a Oyinza okugenda ng’oyitaayita mu mitwe egy’enjawulo ku jw.org oba ku JW Library®. Bw’oba olina ky’oyagala okunoonyerezaako, kiwandiike mu kasanduuko awali ekigambo “Noonya,” ku jw.org.
Wandiika emitwe gino wammanga mu kasanduuko awali ekigambo “Noonya,” oba wandiika ebintu ebitali bimu by’oyagala okusomako.
Okukuza abaana
Abavubuka okwennyamira
Okufiirwa munno mu bufumbo
a Ebintu ebimu bisangibwa ku jw.org kwokka.