EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 20-21
“Onjagala Okusinga Bino?”
Mu biseera eby’edda, abavubi abalungi baabanga bagumiikiriza, nga banyiikivu, era nga beetegefu okugumira embeera yonna okusobola okukwasa eby’ennyanja ebiwerako. (w12-E 8/1 lup. 18-20) Engeri ezo zandiyambe Peetero okubeera omuvubi w’abantu omulungi. Kyokka, Peetero yalina okusalawo obanga anaakulembeza omulimu gw’okuvuba gwe yali akola oba omulimu ogw’okuliisa abagoberezi ba Yesu mu by’omwoyo.
Nkyukakyuka ki z’okoze okusobola okukulembeza obwakabaka?