EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 17-18
Koppa Engeri Omutume Pawulo Gye Yabuuliramu ne Gye Yayigirizaamu
Tuyinza tutya okukoppa omutume Pawulo?
Tusobola okunnyonnyola abantu ebyawandiikibwa, era n’okutuukanya bye tuyigiriza n’obwetaavu bw’abo be tubuulira
Tusobola okubuulira mu bifo ne mu biseera mwe tuyinza okusangira abantu
Mu ngeri ey’amagezi tusobola obutawakanya ebyo abantu bye bakkiririzaamu tusobole okufuna kye tusinziirako okubabuulira