LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb19 Febwali lup. 8
  • Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Similar Material
  • Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Mpeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Muleke Obugumiikiriza Butuukirize Omulimu Gwabwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Nywerera ku Kibiina kya Yakuwa
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Obugumiikiriza Buvaamu Emiganyulo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Febwali lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza

Omaze bbanga ki ng’olindirira Obwakabaka bwa Katonda okujja? Obadde olindirira n’obugumiikiriza wadde ng’olina ebizibu? (Bar 8:25) Abakristaayo abamu bakyayibwa, bayigganyizibwa, basibibwa mu makomera, oba oluusi n’okuttibwa. Abalala bangi bagumidde ebizibu gamba ng’obulwadde obw’amaanyi n’okukaddiwa.

Kiki ekinaatuyamba okulindirira n’obugumiikiriza wadde nga tufunye ebizibu? Tusaanidde okusoma Bayibuli buli lunaku era ne tugifumiitirizaako tusobole okunyweza okukkiriza kwaffe. Ebirowoozo byaffe tusaanidde kubissa ku ssuubi lye tulina. (2Ko 4:16-18; Beb 12:2) Tusaanidde okwegayirira Yakuwa atuwe amaanyi g’omwoyo gwe omutukuvu. (Luk 11:10, 13; Beb 5:7) Kitaffe ow’omu ggulu asobola okutuyamba “okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.”​—Bak 1:11.

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, TULINA ‘OKUDDUKA N’OBUGUMIIKIRIZA’​—BEERA MUKAKAFU NTI OJJA KUFUNA EMPEERA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Jamie ng’abuulira ne mukyala we

    Bintu ki “ebitasuubirwa” ebiyinza okututuukako mu bulamu? (Mub 9:11)

  • Jamie yafuna obulwadde obw’okusannyalala, Carl amusomera ekyawandikibwa

    Okusaba kutuyamba kutya bwe tuba tufunye ebizibu?

  • Jamie ne Carl bakyalidde abafumbo okubazzaamu amaanyi

    Bwe tuba nga tuwulira nti tetukyasobola kuweereza Yakuwa mu bujjuvu nga bwe twakolanga edda, lwaki tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku ekyo kye tusobola okukola kati?

  • Jamie akuba akafaananyi ng’ali mu nsi empya

    Amaaso go gakuumire ku mpeera

    Kiki ekikuyamba okuba omukakafu nti ojja kufuna empeera?

Oyinza otya okuyamba abo abalina ebizibu awamu n’ab’omu maka gaabwe?

  • Yogera nabo ebigambo eby’ekisa, era weewale okubageraageranya n’abalala

  • Bawulirize bulungi

  • Basabire era sabira wamu nabo

  • Bafumbireko ku mmere, oba bayambeko ku mirimu gy’awaka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share