EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 ABAKKOLINSO 4-6
“Ekizimbulukusa Ekitono Kizimbulukusa Ekitole Kyonna”
Lwaki tuyinza okugamba nti okugoba omwonoonyi mu kibiina kyoleka okwagala, ng’ate kireetawo obulumi bwa maanyi?
Kiraga nti . . .
twagala Yakuwa era nti tuwa erinnya lye ettukuvu ekitiibwa.—1Pe 1:15, 16
twagala ekibiina era nti twagala kibe kiyonjo.—1Ko 5:6
twagala omwonoonyi era nti twagala adde eri Yakuwa.—Beb 12:11
Oyinza otya okuyamba ab’omu maka agalimu omuntu agobeddwa mu kibiina?