EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABEBBULANIYA 12-13
Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala
Okukangavvula kuzingiramu okutereeza, okuyigiriza, okubuulirira, n’okubonereza. Yakuwa atukangavvula nga taata ayagala abaana be bw’abakangavvula. Okukangavvulwa tukufuna okuyitira mu ngeri zino:
Okusoma Bayibuli, okwesomesa, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okufumiitiriza
Okuwabulwa mukkiriza munnaffe
Ebizibu ebiva mu nsobi ze tuba tukoze
Okukangavvulwa abakadde oba okugobebwa mu kibiina
Ebizibu Yakuwa by’aba akkirizza okututuukako.—w15 9/15 lup. 21 ¶13; it-1-E lup. 629