EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 PEETERO 3-5
“Enkomerero ya Byonna Esembedde”
Ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo kinaatera okutuuka. Tuyinza tutya okuba abanywevu mu by’omwoyo kati era ne mu biseera ebijja?
Nga tusaba obutayosa
Nga twagala nnyo baganda baffe ne bannyinaffe bonna
Nga tusembeza abagenyi
WEEBUUZE, ‘Biki bye nnyinza okukola okusembeza n’okulaga okwagala ab’oluganda bonna abali mu kibiina kyange ne mu nsi yonna?’