EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 27-28
Yakobo Aweebwa Omukisa
Isaaka okuwa Yakobo omukisa kyali kisonga ku byandibaddewo mu biseera eby’omu maaso.
27:28—Yakuwa yawa bazzukulu ba Yakobo ensi engimu eyali “ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”—Ma 26:15
27:29—Abayisirayiri (bazzukulu ba Yakobo) baafuuka ba maanyi okusinga Abeedomu (bazzukulu ba Esawu).—Lub 25:23; 2Sa 8:14
27:29—Olw’obukyayi bwe baalina ku Bayisirayiri, Abeedomu baakolimirwa era oluvannyuma eggwanga lyabwe lyasaanawo.—Ezk 25:12-14