OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Gezaako Okulowooza ku Byonna Ebizingirwamu
Bw’oba osoma Bayibuli, gezaako okulowooza ku ebyo byonna ebizingirwa mu ebyo by’osoma. Fuba okumanya embeera eyaliwo, abantu aboogerwako, era n’ekiyinza okuba nga kye kya baviirako okukola ebyo bye baakola. Kuba akafaananyi ng’olaba ebyaliwo, owulira amaloboozi, owunyiriza obuwoowo, era weeteeke mu mbeera z’abo b’osomako.
MULABE VIDIYO EYAGGIBWA MU VIDIYO ERINA OMUTWE, LONGOOSA MU NGERI GY’OSOMAMU BAYIBULI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Biki ebiyinza okuba nga bye byaviirako Yusufu ne baganda be okuba nti baali tebakolagana bulungi?
Biki ebiyinza okuba nga bye byaleeteranga baganda ba Yusufu okukola ebintu mu busungu nga tebalowoozezza ku binaavaamu?
Ebyawandiikibwa biraga nti Yakobo yali muntu wa ngeri ki?
Yakobo yateerawo atya batabani be ekyokulabirako ekirungi ku ngeri y’okugonjoolamu obutategeeragana?
Oganyuddwa otya mu kulaba vidiyo eyo?