EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 44-45
Yusufu Asonyiwa Baganda Be
Kiyinza obutatubeerera kyangu kusonyiwa muntu eyatukola ekibi, nnaddala singa aba yakikola mu bugenderevu. Kiki ekyayamba Yusufu okusonyiwa baganda be?
Yusufu teyeesasuza baganda be, wabula yabagezesa asobole okulaba obanga baali bakyusizza endowooza yaabwe kubanga yali ayagala okubasonyiwa.—Zb 86:5; Luk 17:3, 4
Teyabasibira kiruyi, era yakoppa Yakuwa asonyiyira ddala.—Mi 7:18, 19
Nnyinza ntya okukoppa Yakuwa bwe kituuka ku kusonyiwa abalala?