OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mwetoowaze Abalala Bwe Bakutendereza
Oluusi abalala bayinza okutusiima oba okututendereza. Ekyo kiyinza okutuzzaamu amaanyi singa omuntu aba akikoze mu bwesimbu era ng’alina ekigendererwa ekirungi. (Nge 15:23; 31:10, 28) Naye tulina okuba abeegendereza ne kitatuleetera kuwulira nti tuli ba waggulu ku balala oba okufuna amalala.
MULABE VIDIYO, BEERA MWESIGWA NGA YESU BWE YALI—NG’ABALALA BAMUTENDEREZZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Biki ebiyinza okuleetera abalala okututendereza? 
- Ab’oluganda batenderezza batya Sam? 
- Ab’oluganda bamutenderezza batya ekisukkiridde? 
- Biki by’oyigidde ku ngeri Sam gy’azzeemu ab’oluganda abo?