EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 35-36
Yakuwa Yabasobozesa Okukola Omulimu Gwe
Omwoyo gwa Yakuwa gwasobozesa Bezaleeri ne Okoliyaabu okukola ebintu byonna ebyalina okuteekebwa mu weema entukuvu. (Laba ekifaananyi ekiri kungulu.) Ne leero, Yakuwa awa abaweereza be omwoyo omutukuvu. Biki bye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi bw’omwoyo omutukuvu?
Tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutusobozese okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bw’aba atuwadde
Tulina okufuba okusoma Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa
Omulimu gwonna oguba gutuweereddwa tusaanidde okugukola n’omutima gwaffe gwonna
Buvunaanyizibwa ki Yakuwa bw’asobola okukuyamba okutuukiriza?