EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 1-3
Ekigendererwa ky’Ebiweebwayo
Ebiweebwayo oba ssaddaaka Yakuwa bye yalagira Abayisirayiri okuwangayo mu Ndagaano y’Amateeka, byasanyusanga Yakuwa era byali bisonga ku ssaddaaka ya Yesu oba ku miganyulo gya ssaddaaka eyo.—Beb 8:3-5; 9:9; 10:5-10.
Ng’ensolo ezaaweebwangayo nga ssaddaaka bwe zaalinanga okuba ennamu obulungi era nga teziriiko kamogo, ne Yesu yawaayo omubiri gwe ogwali gutuukiridde era ogutaaliko kamogo nga ssaddaaka.—1Pe 1:18, 19
Ng’ebiweebwayo ebyokebwa bwe byaweebwangayo byonna eri Yakuwa nga biramba, ne Yesu yeewaayo yenna eri Yakuwa
Ng’abo abaawangayo ssaddaaka ez’emirembe bwe baabanga n’emirembe ne Katonda, n’abaafukibwako amafuta abalya era abanywa ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe, balina emirembe ne Katonda