LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Ssebutemba lup. 15
  • Buulira Abantu Amawulire Amalungi nti Ensi Empya Enaatera Okujja!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Buulira Abantu Amawulire Amalungi nti Ensi Empya Enaatera Okujja!
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Noovemba
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Ssebutemba!
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Abajulirwa ba Yakuwa—Bategekeddwa Okubuulira Amawulire Amalungi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Kaweefube ow’Enjawulo Okuva nga Okitobba 16–Noovemba 12!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Ssebutemba lup. 15
Omwami n’omukyala nga bali mu Nsi Empya nga bawuubira mikwano gyabwe.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Buulira Abantu Amawulire Amalungi nti Ensi Empya Enaatera Okujja!

Mu mwezi gwa Noovemba tugenda kuba ne kaweefube ow’okubuulira abantu amawulire amalungi nti ensi empya enaatera okujja. (Zb 37:10, 11; Kub 21:3-5) Kola enteekateeka osobole okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo. Abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi omwezi ogwo, basobola okuwaayo essaawa 30 oba 50.

Weetegeke okusomera abantu bangi nga bwe kisoboka waakiri ekyawandiikibwa kimu ekyogera ku nsi empya. Bw’oba olonda ekyawandiikibwa eky’okusoma, lowooza ku ekyo ekinaasinga okukwata ku bantu ab’omu kitundu kyammwe. Omuntu gw’onooba obuulidde bw’anaalaga nti ayagala okumanya ebisingawo, muwe Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna Na. 2 2021. Fuba okuddira omuntu oyo amangu ddala nga bwe kisoboka era ogezeeko okutandika okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna. Nga kijja kuba kya ssanyu okwenyigira mu kubuulira “amawulire amalungi ag’ekintu ekisingako obulungi”!​—Is 52:7.

Okumanya engeri endala ey’okubuuliramu abantu obubaka obwo, laba vidiyo, Omulundi Ogusooka: Amawulire Amalungi​—Zb 37:10, 11

MULABE VIDIYO Y’OLUYIMBA, MU NSI EMPYA EJJA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Biki akawala ke tulabye mu vidiyo eyo bye kafumiitirizaako?

  • Biki by’osinga okwesunga mu nsi empya?

  • Okufumiitiriza ku bintu ebirungi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, kinaakuyamba kitya okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube anaabaawo mu Noovemba?​—Luk 6:45

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share